Eyakutte ekyokuna mu kuyisa aba P.7 essomo ly'okubala awadde banne obukodyo

By Musasi wa Bukedde

Twogeddeko n'omu ku basomesa abaasinze okuyisa abaana mu ssomo lino ng'ono yafunye D1 eziwerera ddala 28 ku bayizi 57 ate abayizi abasigadde 29 ne bafuna D2.

Rogers43 350x210

BYA PROSSY NABABINGE

Essomo ly'okubala lye limu ku gaasinze okusumbuwa abayizi abaatula ekibiina eky'omusanvu (P.7) omwaka oguwedde.

Twogeddeko n'omu ku basomesa abaasinze okuyisa abaana mu ssomo lino ng'ono yafunye D1 eziwerera ddala 28 ku bayizi 57 ate abayizi abasigadde 29 ne bafuna D2.

Ono ye Rogers Kakaire nga y'akulira abasomesa b'okubala mu ssomero lya Yudesi Primary School ku Kalerwe.

Owulira otya okubeera omusomesa ow'okuna eyasinze okusomesa aba P.7 essomo ly'okubala mu ggwanga lyonna?

Mpulira essanyu lya nsusso kubanga nneeraba ng'omusomesa ow'enjawulo, sikyangu okutuukiriza ekiremye abalala era lubeerera nja kusiima ng'omutonzi kubanga waliwo n'abasomesa abava mu mulimu guno ng'ekyo tebakifunyeko.

Okubala okusomeserezza bbanga ki?

Natandika okusomesa mu mwaka gwa 2005 era obusomesa mbumazeemu emyaka egiwerera ddala13.

Bukodyo ki obwenjawulo bwewakozesezza okulaba ng'abayizi bo bayitira waggulu mu ssomo lino?

Bwemba nsomesa abayizi bange, nkakasa nga buly'omu abeera kitundu kw'ekyo kyetubeera tusoma. Mbateeka mu bubinja okubanguyiza okutegeera, mu ngeri eyo, kiba kizibu omwana obutayiga. Kuno ngattako okubasomesa ekintu nga bakilabako.

Nsobi ki abasomesa abasinga ze bakola ne ziviirako abayizi okugwa essomo ly'okubala?

Okubeera n'obusungu buli kiseera, kino kitta okwagala abaana kwebabeera nakwo gyoli era ng'oluvanyuma neby'osomesa babikyawa. Abasomesa abalala tebagaala kunoonyereza oluusi ekibaviirako okusomesa abaana ebintu ebitakwatagana.

 akaire nabamu ku bayizi be Kakaire n'abamu ku bayizi be

Abayizi abasinga tebaagala ssomo lino, wasala magezi ki okubaagazisa by'osomesa?

Nsomesa abaana bano mu ngeri esinga okubeera ennyangu okwo ne ngattako okubafuula mikwano gyange basobole n'okwagala kyembasomesa.

Kiki ekifuula omusomesa owenjawulo?

Engeri gy'enkwatamu essomo lyensomesa n'obukodyo bwenkozesa bunfuula ow'enjawulo.

Oteeseteese otya okwekuumira mu kifo ekyo n'omwaka ogujja?

Pulaani yange yaakusigala nga nkozesa obukodyo bwe bumu nga bwennyomngeramu amaanyi. Nnwanirira kuba musomesa akwata ekisooka mu gwanga lyonna mu kusomesa okubala.

Kintu ki ky'otasobola kwerabira mu lugendo lwo ng'omusomesa w'okubala?

Omwaka abayizi bange gwebasooka okufuna D1 mu ssomo lyange. Okuva olwo saddirira .