Hajji Mugagga; Owa Kibuli SS bamubuuza ku by'okuganza abawala

MINISITULE y’Ebyenjigiriza etandise okunoonyereza ku Haji Ali Kasule Mugagga, Heedimasita wa Kibuli Secondary School olw’ebigambibwa nti aganza abawala b’asomesa.

 Hajji Mugagga

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

MINISITULE y’Ebyenjigiriza etandise okunoonyereza ku Haji Ali Kasule Mugagga, Heedimasita wa Kibuli Secondary School olw’ebigambibwa nti aganza abawala b’asomesa.

Mu binoonyerezebwako mulimu ebigambibwa nti okuganza abawala b’essomero muze gwa Haji Mugagga gw’azze akola nga heedimasita w’e Gombe n’e Lubiri S.S

Minisita Weggwanga ow’Ebyenjigiriza, Muky Rose Senninde yakakasizza nti Haji Mugagga baatandise okumubuulirizaako.

Ku Lwokubiri nga January 23, 2018, Haji Mugagga yawaddeyo ebbaluwa ng’alaga bw’agenze mu kuwummula. N’ategeeza nti emirimu gye gyonna gikwasiddwa omumyuka we, Hajati Mastulah Nambajjwe.

Wadde Mugagga yategeezezza nti agenze mu luwummula okumala ennaku 36, kyokka abaddukanya essomero baafulumizza ekiwandiiko nga bagamba:

Okutandika n’olwa January 24, Hajati Nambajjwe y’agenda okuddukanya essomero okutuusa olukiiko olufuzi bwe lunaatuula lusalewo ekiddako.

Ensonda zaategeezezza nti Mugagga yawaliriziddwa okugenda mu kuwummula olw’okwemulugunya okuva mu buli nsonda okuli abazadde, abaasomerako e Kibuli, Minisitule y’Ebyenjigiriza n’abeeyita abalwanirizi b’eddembe ly’abaana abawala ababadde bassa ebiwandiiko ku mikutu egyenjawulo nga balaga kye bayita obuvuyo bwa Mugagga mu nkwata y’ensimbi n’okuganza abawala.

Eby’okuwaliriza Mugagga okuwummula bijjidde mu kiseera ng’olusoma olusooka lubuzaayo wiiki emu okutandika.

Mu kiseera kye kimu tekitera kubaawo omukulu w’essomero okugenda mu kuwummula ng’olusoma lutandise ate ng’amasomero gabadde mu luwummula era naye (Mugagga) abadde mu luwummula.

Tunoonyereza ku Mugagga-Sseninde

Muky. Seninde yategeezezza Bukedde nti palamenti yayisa etteeka erirungamya n’okukuuma omuntu yenna eyeesowolayo okuwa amawulire agakwata ku mukozi wa Gavumenti yenna akoze ekikyamu (whistle blower).

“Omuntu bw’aleeta amawulire ng’agali e Kibuli, tetuyinza kutuula butuuzi ne tusirika. Olw’ensonga eyo twatandise okunoonyereza ku Mugagga,” bwe yagambye.

Kaminsona avunaanyizibwa ku masomero ga siniya, Sam Kuloba, yategeezezza Bukedde nti baafuna okwemulugunya nti Mugagga akabassanya abayizi abawala.

“Minisitule evunaanyizibwa okukuuma n’okutaasa obulamu bw’omwana omuwala okukakasa nti abeera n’ebiseera by’omu maaso ebitangaavu. Tugenda kuwa lipooti mu wiiki bbiri okuva kati”, bwe yagambye.

Mugagga abyegaanyi

Mugagga yategeezezza Bukedde ku ssimu nti okuwandiika ebbaluwa ng’awaayo ofiisi eyo nkola ya Kibuli, kasita tabeera mu ofiisi ne bwe luba lunaku lumu ateekwa okukissa mu buwandiike n’akwasa omumyukawe obuvunaanyizibwa.

“Aba minisitule bye bagamba nti bali mu kunnoonyerezaako baleete obukakafu obulaga nti bannoonyerezaako kubanga nze sibimanyi”, bwe yaggumizza.

Bino biddiridde ebizze byogerebwa ku Mugagga okuva mu masomero gy’abadde. Okuva mu Gombe SS, Lubiri S.S n’e Kibuli.

Kyokka Mugagga agamba obwo bulimba nti ababyogera bakikola kumwonoonera linnya. Ekiwandiiko ekyaweebwa Minisitule y’Ebyenjigiriza ne kibunyisibwa ku mikutu egyenjawulo kiraga nti amasomero Mugagga gy’ayise ebaddeyo okukwata obubi ensimbi, okuganza abayizi n’abasomesa.

Abaakola ekiwandiiko balaga bwe baatuukirira abamu ku bawala be yaganza ne famire zaabwe era abawala 18 bawandiise sitatimenti n’abamu ne babakwata amaloboozi nga balaga kye bayita Mugagga okubakozesa.

Waliwo n’abawala abava mu maka agateesobola b’ayamba okuweerera ng’abamu yabassa mu maka ge e Seeta ng’abasinga ava mu kubayamba n’abaganza.

Kigambibwa nti emize gya Mugagga gyazuulwa nnyo mu Lubiri kyokka ne gibuutikirwa enkaayana ezaava ku Mugagga okuzimba omuzigiti ku ssomero n’okulagira abawala okwebikkirira obukaaya buli Lwakutaano.

Kino kyawakanyizibwa abatwala essomero eryo eryatandikibwa ku musingi gw’ekkanisa.

Okuzimba omuzigiti kyatwalibwa ng’ekikolwa ky’obuzira ku ludda lw’Abasiraamu ne kiyamba Mugagga okwanguyirwa okugenda e Kibuli mu 2015.

Eyali e Kibuli Dr. Ibrahim Matovu yakyusibwa n’adda mu Kampala High School.