Pulezidenti alagidde ku Kitatta

By Musasi wa Bukedde

ABDALLAH Kitatta ebintu byongedde okumwonoonekera pulezidenti bw’awadde ekiragiro okukwata basajja be abalala bwe baali mu mivuyo gy’okuwamba akatale k’e Busega.

Abdallahkitatta3 350x210

Bya MUSASI WA BUKEDDE

ABDALLAH Kitatta ebintu byongedde okumwonoonekera pulezidenti bw’awadde ekiragiro okukwata basajja be abalala bwe baali mu mivuyo gy’okuwamba akatale k’e Busega.

Pulezidenti okuwa ekiragiro kino kyaddiridde Hajat. Hasifa Ssenkungu Nansubuga okukulemberamu ekibinja ky’abantu 10 ne bamusisinkana mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokusatu.

Mu nsisinkano eno, abakyala balombojjedde pulezidenti Museveni ennaku Kitatta gye yabalabya bwe yabasindikira ekibinja ky’abasajja ababakuba emiggo mu lutalo lw’okuwanba ofiisi y’akatale.

Pulezidenti yali yawa abakyala abakolera e Busega obukadde obusoba mu 15 okwongera amaanyi mu mirimu gyabwe n’okugikulaakulanya nga baali bazeewola okwongera amaanyi mu bizinensi zaabwe nga bwe bazizza mu nsawo eyali ekuumibwa mukyala Ssenkungu.

Mu February wa 2013, abakyala baali bakuhhanyizza 12,200,000/- nga bakuhhaanye ku ofiisi okuddamu okuzigabira bannaabwe abalala nabo bongere mu buzinensi zaabwe.

Wabula nti baali bali awo ekibinja ky’abasajja nga baduumirwa Kitatta kennyini b’abalumba ku ofiisi nga bakutte emiggo n’amayinja ne babakuba ne babafulumya ofiisi era bangi baasibira ku bitanda.

Mu kiseera ekyo abamu ku baabafulumya b’ebaddukanya akatale mu kiseera kino.
Era olunaku lwe baalumbibwa baanyaga ensawo eyalimu 12,200,000/- ezaali z’abaweebwa pulezidenti Museveni era ekiro baalumba ofiizi y’akatale ne bagimenya ne bagisuula ku ttaka.

Abamu ku beenyigira mu lutalo lw’okugoba abasuubuzi mu katale kwaliko; Charles Bugembe Ssentebe w’akatale k'e Busega mu kiseera kino, Patrick Ssebunnya, Yasin Aziz, Hasan ono ye yali talina na mudaala mu katale wabula yagufuna kuba yali mukoddomi wa Kitatta. Abalala kwaliko Nakuwadde ne Isma Lubega.

Oluvannyuma lw’abakyala bano okuyitiramu Pulezidenti ebizibu Kitatta bye yabalabya, yayise Cap. Trevor Kibuuka n’amuwa ebiragiro okukwata abeenyigira mu kavuyo n’okubba ssente ze yali awadde abakyala okwekulaakulanya era n’amulagira okutandikirawo okubanoonya bakwatibwe.

Ensonda zaategeezezza nti Pulezidenti nga mukambwe yagambye nti bonna abaali emabega w’okunyaga ensimbi ze yali awadde abakyala okwekulaakulanya bakwatibwe era bavunaanyizibwe ku kuzisasula.

Hajat Ssenkungu yali alina ekibangirizi ky’omugagga wa Kiddawalime Charles Lwabulindi kye baali bapangisizza okukoleramu nga buli mwezi bamusasula obukadde 2.

Wabula okuva basajja ba Kitatta lwe baawamba ofiisi, teyaddamu kufuna ssente z’abupangisa ekyamuviirako okubatwala mu kkooti bamusasule. Pulezidenti yagambye nti ssente zino nazo balina okuzisasula nga bwe zibanjibwa.

Ensonda zannyonnyodde nti akatale kano nga tekannawambibwa Kitatta, yasooka n’alumba Hajati ng’amusaba okukuba olukuhhana mu Katale kano wabula olukiiko olukakulembera ne lugaana n’anyiiga kwe kutandika okubalumba ng’akozesa eryanyi okutuusa lwe yabafulumya akatale era kigambibwa nti abadde alina omutemwa gw’afuna okuva mu bakulembeze abaliko.