Eyeegasse ku yeerayizza ku Bwakyabazinga bamugobye

By Musasi wa Bukedde

OLUVANNYUMWA lw’omulangira Columbus Wambuzi ow’e Kaliro okwerayiza ku Bwakyabazinga wa Busoga omwaka oguwedde, ab’ekika kya Baise Mutamba omuva Katuukiro wa Busoga bavumiridde Sheikh Muhammadi Walangalira ava mu kika kino era nga ye yali omwogezi waakyo okwegatta ku Wambuzi.

Untitled4 350x210

Bya TONNY TUMBYA

OLUVANNYUMWA lw’omulangira Columbus Wambuzi ow’e Kaliro okwerayiza ku Bwakyabazinga wa Busoga omwaka oguwedde, ab’ekika kya Baise Mutamba omuva Katuukiro wa Busoga bavumiridde Sheikh Muhammadi Walangalira ava mu kika kino era nga ye yali omwogezi waakyo okwegatta ku Wambuzi.

Mu nkola y’e Busoga, Katuukiro ateekeddwa kuba ng’ava mu kika kya Baise Mutamba.

Mu lukiiko olutudde e Nakasubi mu ggombolola y’e Ibulanku nga lukubirizibwa Yokana Ibula bakkaanyizza nti, Walangalira abadde omwogezi w’ekika kino aggyiddwaako obuyinza buno kati ofiisi ye nkalu.

Abamu ku beetabye mu lukiiko luno baasabye omukulu w’ekika akozese obuyinza bwe alonde omuntu omulala ku kifo kino.

Ate akulira ekika kino Ibula agambye nti enfunda nnyingi bazze bayita Walangalira ng’abatenguwa era kati basazeewo bamwesonyiwe era bamulese abeere eyo.