Aba poliisi babiri battidwa mu ntiisa e Kawempe!

By Musasi wa Bukedde

Aba poliisi babiri battidwa mu ntiisa e Kawempe!

Jub1 350x210

ABAZIGU ababadde batambulira ku pikipiki bakubye abasirikale babiri abakolera ku poliisi y’e Kawempe amasasi agabattiddewo ne babatwalako emmundu bbiri ze babadde batambula nazo.

Bino byabaddewo ku Lwokuna ku ssaawa 2:00 ez’ekiro mu Kizza Zooni e Kawempe abazigu bwe balondodde abaserikale babiri okuli PC Ambrose Otim ne Vincent Habiyaremye abakolera wansi wa poliisi ekkakkanya obujagalalo eya Field Force Police ( FFP) ne babakuba amasasi agabattiddewo bwe babadde balawuna.

Buno bwe bulumbaganyi obwokulibiri okukolebwa ku baserikale mu Kawempe ng’obwasooka bwali ku Kaleerwe abazigu bwe baalumba abaserikale babiri okuli Moses Kalungi ne Hussein Mubiru okuva ku poliisi y’e Mutundwe abaali bawerekera abakozi ba kkampuni ya Denovo mu mwezi gwa September 2017 ne babakuba amasasi agaabattirawo emmundu zaabwe ne zitwalibwa ne ssente.

Ssentebe wa Kizza zooni, Godfrey Ssonko yagambye nti, abazigu baabadde basatu nga batambulira ku pikipiki emu nga babiri balina emmundu bakubye abaserikale amasasi ne babaggyako emmundu ze baabadde nazo oluvannyuma ne badduka. “Abaserikale mu maaso ng’abazigu bava mabega ne babakubirawo amasasi agaabattiddewo emirambo gyabwe ne gisigala mu luwonko,” Ssonko bwe yagambye.

Yagambye nti abazigu baabadde n’emmundu bbiri ng’omu akuba amasasi mu bbanga ate omulala ng’agakuba mu bantu era nga waliwo n’obuyumba obwayiseemu amasasi nga kino kiraga nti, baabadde bamalirivu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire yagambye nti, abazigu baalondodde abaserikale bano ababadde batambula ne babakuba amasasi emmundu zaabwe omwabadde amasasi ne bazitwala. Yagambye nti, abaserikale bano balina kukolera ku kitebe kya poliisi y’e Kawempe kyokka bwe baabadde bavaawo okugenda mu kitundu abazigu gye baabakubidde amasaasi tebaategeezezza ku bakama baabwe.

Kino kyaliwo ku baserikale abattirwa ku Kaleerwe abataabuulira bakama babwe gye balaze nga mu kitabo baawandiikamu nti, bagenze okubaako omuntu gwe bakwata e Kinaawa wabula ne bakomekkeza nga babattidde ku Kaleerwe.

Wabula abantu mu kitundu kino ababadde balaba abaserikale bano, baategeezezza nti, babadde baliko kkampuni esangibwa mu kitundu kino we babadde bakuuma nga baasooka kubeera mukaaga kyokka oluvannyuma ne basigala babiri bokka nga kino kyawadde abazigu ekyanya okubatta nga tebeerwanyeeko.

Gyebuvudde omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura bwe yali asisinkanye abaserikale e Kigo mu December 2017 yawa ekiragiro ekikugira abaserikale okutambula bokka era n’alagira abakulira poliisi ez’enjawulo okubafunira emmotoka okubatwala mu bifo gye bakolera n’okubggyayo baleme okukolebwako obulumbaganyi omuli okubatta n’okubatwalako emmundu.

Emirabo gy’abaserikale bano poliisi yagitutte mu ggwanika mu ddwaaliro e Mulago ng’okunoonyereza ku bazigu kwatandise okukolebwa ekitongole kya Flying Squad. Nga March 17, 2017 abaali abatambulira ku pikipiki baateeka eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, AIGP Andrew Felix Kaweesi nga yaakafuluma ewuwe e Kulambiro ne bamukuba amasasi agaamuttirawo.

Yali n’omukuumi we Kenneth Erwau ne ddereeva Godfrey Wambewo.

ABASERIKALE BA POLIISI ABAZZE BATTIBWA July 2013, omusirikale wa poliisi Mohammad Meera, 27, eyali akolera e Masaka Central police station yakubibwa amayinja ne bamutta. Kiteeberezebwa nti yattibwa bavubuka abakozesa ebiragalalagala.

August 2013, abazigu baakuba PC Charles Byarugaba amasasi agaamuttirawo e Mulago n’oluvannyuma ne bakuliita n’emmundu gye yalina. Tony Omora yawonera watono okufa, abazigu bwe baamusindirira amasasi ku luguudo lwa Wampewo mu Kampala ne bagenda n’emmundu gye yalina.

February, 2014 , Kadeeti ASP Joseph Bigirwa eyali akulira poliisi y’e Kajjansi abazigu baamukuba amasasi bwe yali ku mulimu ekiro. SPC, Nelson Tugume yakubibwa amasasi abazigu bwe baali bawanyisigAbaziguanya amasasi okuliraana Jomayi Estates. July 2014, Cpl David Kyambadde eyali amyuka akulira poliisi ya Flying Squad e Kawempe yakubibwa amasasi agaamuttirawo ng’alawuna e Kawaala. ASP Wilson Mugume Bataka eyali akulira poliisi ya Bundibugyo yakubwa amasasi agaamuttirawo ng’akuuma ekiro.

August 2014, Francis Abayo yakuba Lawrence Bila amasasi nga bali ku poliisi y’e Nebbi naye oluvannyuma ne yeekuba amasasi agaamutta.