Katikkiro atenderezza Ssaabasumba ku nsonga za Buganda

By Musasi wa Bukedde

Katikkiro atenderezza Ssaabasumba ku nsonga za Buganda

Feb1 350x210

KABAKA asabye Klezia eyongere amaanyi mu nteekateeka ezigenderera okutumbula enkulaakulana mu Buganda era Obwakabaka bwetegefu okugikwatizaako mu ngeri yonna esoboka okulaba ng’abantu babeera mu bulamu obweyagaza ng’ate bwe batendereza Omutonzi waabwe.

Obubaka buno bwaweereddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okujjukira ensisinkano ya Ssekabaka Muteesa I n’Omuminsane Fr. Simeon Lourdel Mapeera ku Lwokuna February 22, 2018 mu Lutikko e Lubaga.

“Kabaka ayagala enkulaakulana yeeyongere mu Buganda era asaba Klezia ebeere kitundu egende mu maaso ng’etwala enkulaakulana gy'ezze ekola bukya etandika mirimu kuno kubanga bw’otunuulira embeera mwe tuli, Klezia ekoze ebintu bingi ebikyusizza obulamu bw’abantu b’eggwanga lino okuli ebyenjigiriza, amalwaliro kyokka ekikulu olw’enkolagana y’enjuyi zombi, ettaka erisinga klezia kw’ekolera lyaweebwayo Kabaka,” Mayiga bwe yayogedde eri Abakristu.

Ensisinkano eno yaliwo February 23,1879 mu Lubiri lwa Muteesa I nga lwali Lubaga mu kifo kyennyini awatudde Lutikko. Omukolo gwajjukiddwa wansi w’Omulamwa “Eklezia Katolika n’Obwakabaka bwa Buganda 1879-2018:Tukwatire wamu mu kuweereza abantu ba Katonda” bwatyo Mayiga n’ategeeza nti ebigendererwa by’Obwakabaka ne Klezia bye bimu era ne yeebaza Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga olw’okuvangayo ku buli nsonga ezinyiga Obwakabaka. “Ku lw’Obwakabaka nneebaza Ssaabasumba Lwanga olw’okuvangayo ku nsonga enkulu ezinyiga Buganda ate n’okwagala Kabaka we ng’Omusajja eyeddira emmamba.

Nneebaza Ssaabasumba n’abamuyambako olw’okubbula ekaddiyizo lya Klezia mu Ssekabaka Muteesa I,” Mayiga bwe yeebazizza Ssaabasumba. Ye Dr. Lwanga yategeezezza nti enkolagana wakati wa Klezia n’Obwakabaka ezze yeeyolekera mu bintu bingi bwatyo n’atendereza Muteesa I olw’okukkiriza Klezia okutandika okubuulira enjiri.