Abayindi bawabudde Uganda ku nsuubulagana y'amawanga gombi

By Muwanga Kakooza

GAVUMENTI ya Buyindi egenda kussaawo ekitongole ekigenda okuvunaanyizibwa ku nkolagana yaayo ne Afrika naddala mu by’obusuubuzi era esabye Uganda okufuna ebintu amawanga gombi mwe gagenda okukolagana.

Fulu 350x210

Ekitongole kino kimanyiddwa nga India Africa Insititute of Foreign Trade.Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamakolero e Buyindi ekya , All Ndia Assocation of Industries, Vijay Kalantri bino yeyabitegeezezza ng’asisinkyanye omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda Edward Kiwanuka Ssekandi mu kibuga Mumbai e Buyindi era n’asaba Uganda efune ebintu by’esinga okwagala okukolaganamu ne Buyindi okugeza tekinoligiya, obulimi, enguudo n’ebirala.

Yagambye nti ebintu Buyindi  by’erinamu obukugu  mulimu eby’okusima obuggagga bw’omu ttaka, ebyobulamu, eby’obulambuzi, amasannyalaze.

Ssekandi yagambye Uganda bw’ekolagana ne Buyindi mu bintu (Buyindi) by’egisingako obukugu  ng’obuvubi, bbanka, okusima eby’obuggagga bw’omu ttaka, tekinologiya kijja kuganyulwa Uganda.

Yagambye nti Uganda ejja kwongera okwolesa ebigikolebwamu Abayindi basobola okulaba emikisa gye basobola okufunamu singa bwe baba baagala okuleeta muno ssente zaabwe.

Mu nsisinkano eno amakampuni ga Buyindi agaagala okutandika wano emirimu gassizza emikono ku biwandiiko .

Akulira bbanka ya Exim Bank, David Rasquinha yasabye amakampuni ga Buyindi okunoonya ebintu bye gasobola okussaamu ssente nga bazze mu Uganda nadaa eby’okulongoosa ebibala ng’ennansi, amata, ne sukaali n’agamba nti bbanka nneetegefu okubawola.