Aba DP bavuddeyo ku bulumbaganyi ku bannaddiini

By Muwanga Kakooza

DP evuddeyo ku ku bulumbaganyi n’okutiisibwatisibwa okutandise okukolebwa ku bannaddiini n’egamba nti kandiba akakodyo ka gavumenti ak’okubalemesa okwogera amazima ku bikyamu ebigenda maaso mu ggwanga.

Dp1 350x210

DP evuddeyo ku ku bulumbaganyi n’okutiisibwatisibwa okutandise okukolebwa  ku bannaddiini n’egamba  nti kandiba akakodyo  ka gavumenti ak’okubalemesa okwogera amazima  ku bikyamu ebigenda maaso mu ggwanga.

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito yeemulugunyizza nti waliwo omusajja eyamukubidde essimu n’amulabula yeegendereze by’ayogera  nti ayinza okutemulwa ng’eyali Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Janan Luwumu. Era nti yamugambye nti buli munnaddiini aliko fayiro y’ebimuwandikibwako bambega.

Kyokka yabadde yaakabyogera ate omusajja Kaddu n’alumba omulabirizi w’e Namirembe ku wolotaali n’embuukuuli y’omuggo mu kusaba kwa Paasika wabula n’asimattukira watono okukubwa.

Omwogezi wa DP Keneth Paul Kakande agambye bannamawulire nti kano kandiba akakodyo k’okulemesa bannaddiini okwogera amazima nga bwe babadde batandise okukola ku gavumenti n’agamba nti DP evumirira ebikolwa nga bino.

Yagambye nti gavumenti eyinza okwekwasa kino n’etandika okuyiwa abaserikale mu masinzizo nti bakuume bannaddiini abalabika ng'abali mu katyabaga ekintu ekijja okubalemesa okwetaaya.

Yasabye gavumenti obutasaagira  mu nsonga za musajja yazinze omulabirizi Luwalira.

Ku musolo ku bakozesa emikutu gya yintanenti nga Facebook, Whats App n’emirala gavumenti gw’eyagala okussaawo, DP yagambye nti gigendereddwaamu kulemesa bantu kukubaganya birowoozo  n’okwogera ebibaluma n’agamba tegusaanye kubeerawo.

Yawakanyizza n'entegeka z’okugatta ba ‘crime preventers’  ku ggye lya UPDF.