Abatuuze be Kawempe beemulugunyizza ku bifo mwe bagula eby'okulya

Abatuuze be Kawempe beemulugunyizza ku bifo mwe bagula eby'okulya

ABATUUZE b'e Kawempe balaze okutya olw'abatundira eby'okulya mu bifo ebicaafu ekiyinza okubaviirako endwadde ez'enjawulo ne basaba ekitongole kya KCCA okusitukiramu ku nsonga eno . 

Abatunda eby'okulya ku nguudo z'omu kampala abasinga tebalina lukusa kuva mu kitongole kya KCCA ekiviriddeko buli omu okuteeka   bizinensi wasanze ku bano kuliko abatunda Chips ne nkoko , chapati , emmere enfumbe ,omucomo n'ebirala.

 E kawempe  eby'okulya bintu bitundibwa ku myala ,okumpi ne kasasiro ,okumpi ne kaabuyonjo n'ebirala .Jane Nantumbwe omutuuze w'omu kizza zooni e Kawempe yategeezezza nti bantu bangi bafuna endwadde ezenjawulo eziva ku bitundibwa mu bifo
ebicaafu naye nga bbo tebakimanyi , yagasseeko nti abasiika enkonko ne chips ku nguudo ne mu butale abasinga bibaddibako ne babitereka ne babyongerezzako enkeera .

Yayongeddeko nti ensonga eno bazze bagitegeeza aba KCCA bekikwatako naye tewali kikolebwawo ng'era ebikwekweto ebisinga ku by'okulya basinga ku bikola mu   super Market  ez'enjawulo  kyokka ng'abatundira ku nguudo ba bulabe nnyo kuba bbo ebidiba babisuzzawo ne babyongerezzako enkeera

 Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe gye buvuddeko yategeezezza nti kifuufu waliwo okwemulugunya ku bantu abatundira eby'okulya mu bifo ebicaafu  ng'ekitongole kya KCCA kirina okusitukiramu n'ekibalabula oluvannyuma n'ekiryoka  kibagobawo , yagasseko nti waliwo ensobi ezikolebwa abantu nga bakimaanyi kikyamu naye nga tebalinawo wantu
walala we bayinza kukolera