Bazudde emiwaatwa abagezigezi mwe bayita okukusa ebyamaguzi ku nsalo ne bafiiriza Gav't emisolo

By Muwanga Kakooza

AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’ebyensimbi n’okutegekera eggwanga kalambudde ensalo za Uganda ne kazuula ng’omuze gw’okukusa ebyamaguzi gufuuse baana baliwo!

Kate2 350x210

Akakiiko kano akakulirirwa omubaka Henry Musasizi (Rubanda East) kamaze ennaku ttaano nga kalambula ebifo ebitongole ayitibwa mu kuyingira n’okufuluma Uganda  mu bugwanjuba n’obukiikakkono bwa Uganda,okusinziira ku kiwandiiko ky’amawulire ekyafulumiziddwa palamenti.             

Baagenze mu bifo okuli Busia, Malaba, Elegu, Afogi, Oraba, Lira, Vura ne Packwach. Era kaazudde ng’okukuza ebyamaguzi, abasuubuzi okulemwa okwogera amazima ku bungi bw’ebintu bye batwala n’olumu okubikweeka gikyaliwo. 

Akakiiko kaategezeddwa nti ng’ogyeko e Busia, ekifo awayingirirwa  n’okufuluma eggwanga okugenda n’okuva mu Kenya e Malaba tekirina kizimbe kya wamu bakungu ba mawanga gombi mwe batuula. Kino kyonoona obudde bw’abayingiza n’okufulumya ebyamaguzi.             

Kaminsona avunaanyizibwa ku bifo awayingirirwa n’okufuluma Uganda Dickson Kateshumbwa  yagambye nti oluguudo oluyamba Uganda okufulumya ebyamaguzi luli mu mbeera mbi.

Yasabye gavumenti ekole ku luguudo luno olutaweza wadde kilomita emu.    

Malaga eyingiza ebyamaguzi ebiweza obutabalika mukaaga n’ekitundu ate n’efulumya bya butabalika nga bubiri. Busia yasinga kuyitayo mafuta.

Ku nsalo ya Uganda ne South Sudan, kaminson Kateshumba yagambye nti basanga obuzibu okulondoola abakukusa ebyamaguzi kuba abasuubuzi basobola okuyita buli we basanze ne beewala ebifo ebitongole ebiyitibwa okuyingira n’okufuluma eggwanga.