Yeekandaggidde ku kkooti e Nabweru lwa kuyimbula eyamubba

By Musasi wa Bukedde

Yeekandaggidde ku kkooti e Nabweru lwa kuyimbula eyamubba

Kanda 350x210

BYA STEVEN KIRAGGA  

OMUSUBUUZI w’amatooke mu munisipaali y’e Nansana akukkulumidde kkooti y’e Nabweru bw'eyimbudde omusajja gw'alumiriza okumubba ebintu  bye saako okumufera ekyapa.

Josephine Nakayiza Nansukusa y'akukkulumidde abatwala kkooti y’e Nabweru ng'awakanya eky'okukkiriza Saulo Nsubuga Wasswa gw'alumiriza okumenya edduuka lye n'amubbako eby'amasannyalaze ebisukka mu bukadde 20.

Nakayiza okwekyawa kiddiridde omulamuzi wa kkooti y’e Nabweru, Esther Rebecca Nasambu okukkirizza Saulo okweyimirirwa n'ateebwa.