Omutuuze asobeddwa ku bamwokera ebintu

Omutuuze asobeddwa ku bamwokera ebintu

ABANTU abatannategeerekeka baalumbye amaka g’omutuuze, David Matovu ow’e Nyanama ne bookya mmotoka ye. Kino kyeraliikirizza aba famire ne basaba poliisi ebawe obukuumi. Matovu agamba nti, abazigu baasooka kumulumba ku ntandikwa y’omwaka guno ne bateekera ennyumba ze ez’abapangisa ezisangibwa e Nyanama omuliro, era emizigo ebiri gyonna ne gisaanawo. “Ensonga nazikwasa poliisi.

Mbadde nkyali ku kya kwokya nnyumba zange ate abazigu baakomyewo mu kiro nga April 18, 2018 ne balumba ekkolero lyange erya Morgan erikola ebizigo ne ssabbuuni. Baasanzeewo emmotoka yange ekika kya Noah UAQ 664A ne bagiteekera omuliro yonna. Abadduukirize abaalabye omuliro nga gutuntumuka be batuzuukusizza ne tukubira poliisi eyayanguye okujja n’eguzikiza.

Neewuunya emmotoka okukwata omuliro kuba emmotoka nali ngisimbye mu luggya okumala ennaku bbiri nga sigivuga, ne nsoberwa ekyagiviirako okukwata omuliro. Emyaka egisoba mu 10 gye mmaze e Nyanama, sirinamuntu gwe nninako mpalana wadde mu mirimu, naye kirabika waliwo omuntu antambulirako.kubanga omuliro guno gulaga nga mutegeke bulungi, ate gwonna gukwatira mu ssaawa ze zimu, ssaawa 7:00 ez’ekiro. “Ndi mu kweraliikirira kuba ayokya ebintu byange ajja ssaawa ze zimu, 7:00 ogw’ekiro” Matovu bwe yagambye.

Abdu Nasser Hidujja, akulira ebikwekweto ku poliisi e Kabowa yagambye nti, bali mu kunoonyereza abali emabega w’ebikolwa bino bakwatibwe bavunaanibwe.

Yagambye nti waliwo abantu ab’enjawulo abaggyiddwaako sitatimenti omuli n’abapangisa ba Matovu bayambeko mu kunoonyereza. “Twagguddewo emisango egy’enjawulo ku fayiro SD: 24/19/04/18 , singa tunaazuula abeenyigira mu kikolwa kino baakukangavvulwa mu mateeka” Hidujja bw’agambye.