Aba Swangz Avenue bajaguza okuweza myaka 10

By Martin Ndijjo

Ebikujjuko by'okuweza emyaka 10 aba Swangz Avenue gye bamaze mu nsike y'okuyimba nga batumbula ebitone by'abayimbi bitandikidde mu ggiya.

Swang 350x210

Kyabadde kiro kya kukuba lwaali nga bwe bejjukanya n’ebikadde abayimbi okuli; abali mu Swangz Avenue, abaaliyo n’abakozeko n’ekibiina kino bwe basisinkanye ku kabaga akamutiddwa Bell Jamz

Ku kabaga kano akabadde ku The Square, aba Swangz Avenue nga bakulemeddwamu Julius Kyazze ne Benon Mugumbya  kwe balangiridde enteekateeka z’ekibiina kyabwe okujjaguza emyaka kumi gye bamaze mu nsike nga batambula ebitone by’abayimbi .

Francis Kirabira  maneja wa Bell Lager  yategeezezza nti nga bakolera wamu n’aba Swangz bagenda kutalaaga ebitundu by’eggwanga bakubeyo ebivvulu mu kye bayise ‘The Swangz All Star Tour’ ng’ebivvulu bino bigenda kubeerako abayimbi okuli;  Fik Fameika, Ykee Benda, Bebe Cool, Winnie Nwagi, Sheebah, Vinka, Vampos, A Pass n’abalala era bano bakumaliriza n’ekivvulu gaggadde nga 31 August ku  Lugogo Cricket .

Abayimbi ba Hip hop abato okuli; Fefe busi  ne Da Agent nabbo ababaddeyo bacamudde abantu bwe babakubidde emiziki ng’oyinza okulowooza bali mu kuvuganya kulabako ani asinga era Fefe busi eyasembyeyo okusiteegi obwedda ayimba abantu bwe bawaga nti gwe abasinga olw’ekitone kye yayolesezza.

Ate abayimbi abayite abaliko okuli; Navio, Ks Alpha(Sulaima Kamulegeya), Vampino, Benon Mugumya, Rabadaba, Viboyo Oweyo n’abalala ababaddeyo nabbo bacamuse ne balinya ku siteegi okulaga kye balinawo.