Ow'emyaka 15 alumirizza Ssengaawe okumufumbiza nga taneetuuka

SSENGA eyafumbizza muwala we atanneetuuka poliisi emukutte n’omusajja gwe yamuwa amuwase.

 Nabaweesi eyafumbizibwa Ssengaawe Birungi (ku ddyo) nga tanneetuuka

Okukwatibwa kwabwe kyaddiridde Florence Nakityo omutuuze w’e Mubende gy’alina ebbaala ng’ono ye maama wa Nabaweesi 15, okugenda ku poliisi y’oku Kaleerwe n’aggula omusango ku Joseph Biyinzika 29, omutuuze w’e Kawempe nga mubazzi e Bwaise ne Shamim Birungi ssenga wa Nabaweesi eyamufumbizza.

Nakityo yategeezezza nti baayawukana ne bba ng’omwana akyali muto n’amukuza n’okumuweerera wabula mu 2015 olw’okuba yali takyalina ssente, yasalawo okumutwala mu kika kye ku kyalo Kiganda mu disitulikiti ye Mubende ng’eno Shamim Nabaweesi (ssenga) gye yamunoona n’amuleeta mu Kampala ng’asuubizza okumuweerera yeeyongereyo mu P7 kuba yali amukomezza mu P.6 ku ssomero lya St. Mary’s Primary School e Mubende.

Yangeddeko nti Birungi (ssenga) olwaleeta omwana mu kibuga teyamwongerayo kusoma yamutwala Bwaise n’atandika okuweereza bakasitoma ebyokunywa era ng’eno gye yamufunira omusajja n’amufumbiza ku mpaka.

Yagambye nti waliwo mukwano gwe eyalabye omwana ng’ali mu mbeera mbi nga wano we yasitukidde n’asanga ng’omwana we baamulongoosaamu omwana n’amutwala n’omuzzukulu n’abajjanjabako era bwe baatereddemu n’ajja mu Kampala, poliisi n’ekwata Birungi ne Biyinzika

NABAWEESI AYOGEDDE

Nabaweesi : Ssenga yannoona mu kyalo n’angamba nti agenda kunsomesa wabula olwantuusa mu kibuga n’antwala e Bwaise gy’akolera ne ntandika okumuyambako okuweereza ebyokunywa.

Oluvannyuma yandagira mbeere mu mukwano n’omu ku bakasitoma (Biyinzika) kye nawakanya. Wabula lumu Biyinzika yajja ewa ssenga mu zooni ya Ssebina mu muluka gwa Makerere III e Kawempe ssenga n’angamba mbeere naye mu mukwano.

Ssenga yasalawo okufuluma enju n’atusibiramu era Biyinzika n’ankozesa nga bw’angamba nti anjagala nnyo. Oluvannyuma yandagira ngende ewa Biyinzika nkakkalabye obufumbo.

Ng’amaze okunfunyisa olubuto ssenga ne Biyinzika bandagira ngende mu kyalo male okuzaala nti nja kudda. Omwezi oguwedde nga April 7 abasawo mu ddwaaliro e Mityana bannongosaamu omwana wa Biyinzika kati omwana wa mwezi gumu.

BIRUNGI SSENG A W’OMWANAYEEWOZEZZAAKO

Birungi: Kituufu omwana namunoona mu kyalo nga mmuleese ku musomesa naye n’anzirukako.

Ekibi sirina poliisi gye naloopako musango mw’ekyo bansonyiwe naye eby’okumufumbiza sirina kye mbimaanyiiko.

BIYINZIKA AYONGEDDE OKUYIIWAYO SSENGA

Biyinzika: Amazima Birungi ye yankwasa muwala we afuuke mukyala wange era yansaba ne gomasi nga sirina ssente ne musaba okulindamu nfune.

Eby’okusindika Nabaweesi mu kyalo twakiteesako ne Birungi ne tukkiriziganya nti amale okugenda okuzaala era obuyambi mbadde mbuwaayo.

POLIIISI

Poliisi egamba nti Birungi ne Biyinzika baguddwaako omusango ku fayiro SD:18/04/05/2018 nga fayiro yaabwe ebatwala mu kkooti emaliriziddwa ng’eri CRB 080/18