Besigye yeesoze akalulu k’e Rukungiri

By Musasi wa Bukedde

Besigye yeesoze akalulu k’e Rukungiri

Dep1 350x210

EYAVUGANYAAKO ku bwapulezidenti ng’ayita mu kibiina kya FDC, Col. Kiiza Besigye, Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago n’omubaka wa Kawempe South, Mubarack Munyagwa baagenze e Rukungiri okunoonyeza Betty Muzaniira akalulu.

Dr. Besigye ne banne baagenze mu ggombolola y’e Buhunga ne boogera n’abalonzi ne bagamba nti baagala omuntu waabwe okuva bwe yawangula omusango n’akalulu akawangule.

Besigye yasabye abal;onzi okuyiira Muzaniira obululu kubanga yagenda okubayamba okusiguukulula Pulezidenti Museveni mu ntebe. Lukwago yategeezezza abalonzi nti, beegasse wamu okulaba nga bafuna obuwanguzi n’agamba nti mu Kampala gy’akulembera bagezezzaako okumulwanyisa kyokka ne bamulemwa. Akalulu kaakubaawo nga May 31, ng’embiranye eri wakati wa Bety Mumuzanira (FDC) ne Winie Matsiko owa NRM.