Looya avudde mu musango ne gutabuka

By Musasi wa Bukedde

Looya avudde mu musango ne gutabuka

Lop1 350x210

OMULAMUZI wa kkooti enkulu e Mubende, Joseph Mulangira ayongezzaayo okuwulira omusango oguvunaanibwa omugagga w’e Mityana, Richard Ssonko ne banne bataano oluvannyuma lwa looya we okuva mu musango guno.

Christopher Bakiza ye yavudde mu musango gw’okusaddaaka omwana Clive Kisitu 3. Ssonko avunaanibwa ne Veronica Tebitendwa, Paul Muganga, Frank Ssemanda, Hassan Nyenje ne Musa Sekiranda eyakkiriza omusango. Bakiza teyawadde nsonga. Guddamu mu August, olunaku bajja kuluwa.