Eddy Kenzo akubye ku matu

By Martin Ndijjo

Eddy Kenzo akubye ku matu oluvannyuma lw'okufuna obujjanjabi olw'obulwadde bwa alusa obumutawaanya

Ken2 350x210

EMBEERA y’omuyimbi Eddy Kenzo (Eddirisa Musuuza) egenze erongooka oluvannyuma lw’okufuna obujanjabi. 

Kenzo bamuddusizza mu ddwaaliro lya Case Hospital gye yaweereddwa ekitanda ng’ali mu bulumi obw’amaanyi  olw’obulwadde ba alusa obumutawaanya.

Martin Beta Muhumuza omu ku bamaneja ba Kenzo ategeezezza ku ssimu nti embeera ya Kenzo egenze erongoka oluvannyuma lw’okufuna obujjanjabi.

 enzo ngali ku kitanda Kenzo ng'ali ku kitanda

 

Ensonda eddala zitegezezza nti Kenzo amaze ebbanga ng’akola nnyo kyokka nga tafuna budde bumala okuwuumula ate n’okulya taliira mu budde ekimuviriddeko omubiri okunafuwa.

Martin Beta ayongeddeko nti wadde Kenzo bamusiibudde, akyagenda mu maaso n’okufuna obujjanjabi era akyaliddeko n’amalwaaliro agenjawuulo okwongera okumwekebejja.

Embeera y’obulwadde era yalemesezza  Kenzo okuyimba ne ku kivvulu kya ‘One Africa Music Festi’ ekyabadde mu kisaawe kya Wembley mu Bungereza.