Fayiro y'okutta Kaweesi eweerezeddwa mu Kkooti Enkulu

By Musasi wa Bukedde

FAYIRO y’omusango gw’okutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi eweerezeddwa mu Kkooti Enkulu.

Kaweesi703422 350x210

FAYIRO y’omusango gw’okutta eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi eweerezeddwa mu Kkooti Enkulu.

Fayiro eno ebadde mu kkooti ento e Nakawa, omusango gye gubadde guwulirwa.

Omulamuzi Noah Ssajjabbi abadde mu mitambo gy’omusango guno yategeezezza balooya b’abasibe 23 abaabadde bagenze okuwulirwa okugobwa kw’omusango guno.

Okusaba okugoba omusango guno kiddiridde balooya b’abasibe okuwandiikira kkooti nga bagisaba egobe omusango guno, gwe bagamba nti guliwo mu bukyamu ng’abagambibwa okutta Kaweesi si batuufu.

Ssajjabbi yagambye nti tasobola kuwa nsala ye ku musango guno kubanga fayiro yayitiddwa n’etwalibwa mu Kkooti Enkulu ewozesa emisango gya nnaggomola nga baagala okugyekenneenya.

Omuwaabi wa Gavumenti Racheal Nabwire ali mu musango guno yagambye nti, babadde tebannaba kumaliriza kukung'aanya bujulizi ne nasaba kkooti ebongereyo ku budde.

Omulamuzi Ssajjabbi ayongeddeyo akakalu ka kkooti ke yawa abasibe 14 be yayimbula okutuusa nga August 14, 2018.

Oluvannyuma lwa Kkooti okwongerayo okuwa ensala yaayo, looya w’abawawaabirwa Gedfrey Turyamusiima yagambye nti, kkooti eringa ebamalira ebiseera nga kati guweze omwaka n’okusoba ng’oludda oluwaabi teruleeta bujulizi.