Gavt eyongedde amaanyi mu bulunzi bw’enjuki

By Musasi wa Bukedde

GAVUMENTI ng’eyita mu minisitule y’eby’obulimi eyongedde amaanyi mu kutumbula obulunzi bw’enjuki mu disitulikiti 24 ezisangibwa mu masekkati g’eggwanga.

Casa 350x210

Okusinziira ku kamisona avunaanyizibwa ku by’ebiwuka, Fredrick Luyimbaazi, gavumenti yasazeewo okuzuukusa obulunzi bw’enjuki oluvannyuma lw’okukizuula nti abalimi bangi babadde baava dda ku by’okuzirunda ng’entabwe yava ku balimi abasusse okufuuyira ebirime byabwe ekigoba enjuki n’okuzitta.

Luyimbaazi agamba nti enjuki zeetaagibwa nnyo abalimi olw’omulimu gwe zikola ogw’okutambuza enkwaso eyamba ku birime okusobola okubala ennyo.

“Twagala abalimi bakendeeze ku kufiiyira nga bakozesa eddagala ery’obulabe eri obutonde nga mwe muli n’enjuki ate ez’omugaso ennyo gye bali.

Ennaku zino n’ayagala okusaggula ekisambu ng’ateekateeka ennimiro afuuyira bufuuyizi, abalala bookya empiira enjuki ne bazookeramu, ebyo byonna bwe twagala okulwanyisa mu nteekateeka eno,” Luyimbaazi bwe yagambye.

Luyimbaazi yabadde ayogera eri abalunzi b’enjuki n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Kayunga abaakulembeddwaamu omumyuka wa ssentebe, Charles Mubiru ku Lwokubiri ng’aba minisitule batutteyo emizinga gy’enjuki, ebyambalo ebikozesebwa okuwakula enjuki, n’ebikozesebwa ebirala nga byonna bibalirirwamu obukadde 15.

Alice Kangavve, atwala eby’enjuki mu minisitule y’ebyobulimi yategeezezza nti ezimu ku disitulikiti eziri mu nteekateeka y’okuzzaawo okulunda enjuki mulimu Mukono, Kayunga, Buikwe, Luweero, Buvuma, Wakiso, Mayuge, Kamuli, Luuka ne Iganga.

Kangavve yagambye nti enteekateeka eno yaakumala emyaka 5 ng’erimu obuwumbi 7.