Dr. Bitone alojja bazigu abaamuwambye n'okumukuba

By Martin Ndijjo

Abantu abatanategerekeka bawabye omuyimbi Dr. Bitone bamukubye, bamulese ataawa .

Bito2 350x210

ABANTU abatannategeerekeka bawambye omuyimbi Dr. bitone (Denis Kawuki) mu kiro ekikeesezza leero ne bamukuba mizibu. Bamulese ataawa ne babulawo.

Bitone eyaddamu oluyimba ‘Bwewakolanga’ olwa Elly Wamala tumusanze mu ddwaaliro e Nsambya ng’ali mu bulumi obw’amaanyi olw'ebiwundu bye yafunye ku mutwe kyokka we bukeeredde ku makya abadde afunye mu ku maanyi agogera.

Bitone agamba zaabadde mu ssaawa 5:00 ez’ekiro ng’ava Makindye ku Paka-Last agenda  ku Amazon mu bitundu by’e Luwafu gy'asula.

ekimu ku biwundu ebiri ku mutwe gwa r itone

Ekimu ku biwundu ebiri ku mutwe gwa Dr. Bitone


Yabadde mu mmotoka  y'ekika kya Mark II naye olwa jjaamu eyabadde akutte okuva mu masang'anzira g’enkambi ya Military, okukkirira wansi ku ku Calender Hotel, yasazeewo amusaleko ng'ayita mu kakubo akayita ku bbaala ya Eagles okudda ku Klezia ya St Agnes.

Yabadde yaakavugako katono kwe kulaba mmotoka ekika kya Range Rover emuvaako emabega ng’emukubamu amataala nga balinga abalina kye bamugamba oba okumulabula.

Dr. Bitone agamba nti olwabadde okusiba omusajja omu ye yasoose okuva mu mmotoka n'ajja ku yiye n'amutegeeza nti wa byakwerinda kwe kusaba Bitone amulage ebimukwatako.

Bitone agamba yabadde asikayo densite abasajja abalala basatu ne basembera. Omu yamusonzemu emmundu wakati mu kutya yatandise okulaajana kyokka bano baagenze mu maaso n’okumusiba empingu ku mikono ne bamukunguzza okutuuka mu bitundu bya Calender Hotel ne batandika okumukuba.

Omusajja omu eyawulidde okulaajana okw’amaanyi ye yamuwonyezza bwe basoose okumukanga abaviire kyokka ne yeefuula akuba essimu abazigu kwe kudduka.