Ochola atandise okubala Abapoliisi bonna mu ggwanga

By Stuart Yiga

Ekitongole kya Poliisi ekikwatisa empisa ekya ‘Police Professional Standards Unit’ kitandise okubala n’okuwandiisa abaserikale bonna abali mu kitongole kino n’ekigendererwa eky’okumanya omuwendo gw’abaserikale oguli mu ggwanga.

Panda1 350x210

Kino  kikoleddwa ku biragiro by’akulira Poliisi, IGP Martin Okoth Ochola, era ng’abaserikale abali mu ttunduttundu lya Kampala n’emiriraano (Kampala Metropolitan) be batandikiddeko. 

Ochola agamba nti enkola eno ng’ewedde, ejja kubasobozesa okuteekerateekera Poliisi obulungi nga basinziira ku muwendo gw’abaserikale gwe balina ku buli poliisi okwetoloola eggwanga lyonna n’okumanya abadduka mu poliisi oba abeebulankanya ku mirimu.