Muka Kayihura ayogedde ku by’okukwatibwa kwa bba

By Stuart Yiga

Muka Kayihura ayogedde ku by’okukwatibwa kwa bba

Wa 350x210

Mukazi w’eyali omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen.Kale Kayihura afulumizza ekiwandiiko ng’alambika eggwanga ku bannamateeka be baasazeewo okutambuza ensonga z’omuntu waabwe eyakwatiddwa amagye gye wiiki wedde.

Angella Kayihura mu kiwandiiko ky’afulumizza ategeezezza nti bo nga famire, baalonze bannamateeka ba M/S Kampala Associated Advocates, okutambuza ensonga ezivunaanibwa omuntu waabwe so si bannamateeka ba Evans Ochieng oba Caleb Alaka nga bwe kibadde kirabikira ku mikutu gy’amawulire egimu.