Kkooti eragidde okuyimbula omugagga wa Movit, Simpson Birungi

KKOOTI Enkulu eyisizza ekiragiro eri ebitongole ebikuumaddembe okuta omugagga wa Movit, Simpson Birungi eyakwatibwa ku ntandiika y’omwezi guno ku misango egyenjawulo.

 Omugagga wa Movit, Simpson Birungi

Bya ALICE NAMUTEBI

Birungi abadde waakuleetebwa mu kkooti ng'omulamuzi Musa Ssekaana bwe yalagira kyokka kkooti yatudde ne balinda abakuumaddembe bamuleete nga buteerere.

Okusinziira ku bujulizi obwaleeteddwa mu kkooti, Birungi akuumibwa mu kifo ekimu ekitamanyikiddwa mu mateeka e Kyengera.

Mu kkooti ebitongole ebikuumaddembe nga ISO, CMI, Poliisi n’omuwolereza wa gavumenti bonna tebalabiseeko kwewozaako lwaki  Birungi bamukuumidde ennaku ezisukka 13 nga tebamutwala mu kkooti kuvunaanibwa musango gwonna yadde nga baali baayitibwa.

Wano omulamuzi Ssekaana w'asinzidde okuyisa ekiragiro eri ebitongole bya gavumenti ebikuumaddembe byonna okuta Birungi mbagirawo kubanga ennaku 48 zebalina okumukuumira ku poliisi nga tanatwalibwa mu kkooti kuvunaanibwa zagwaako dda.

Wabula yadde nga kkooti yalagidde  Birungi ateebwe, tekinakakasibwa obanga agenda kuteebwa nga kkooti bweyalagidde.

Gye buvuddeko ab’enganda za Birungi nga bakulemberwamu mukyala we, Sheila Kyokusiima bawabira gavumenti mu kkooti olw’okukwata omuntu wabwe nebamukuumira mu kifo kyebatamanyi okumala ebanga ddene.

Kyokusiima  yategeeza kkooti nti bba bwe yakwatibwa abasajja abalina emmundu nga June 7, 2018 bwe yali agenze ku poliisi y'e Kibuli ku misango gy’okutemula eyali omukozi we, Stephen Asaba mu 2010.

Asaba ng’ono yali manejja wa Birungi yattibwa abantu abatannategeerekeka omulambo gwe ne bagusuula e Nakawuka ekisangibwa mu disitulikiti y'e Wakiso.

Kyokka akulira ISO,  Col. Frank Bagyenda Kaka yakakasa okukwatibwa kwa  Birungi n'agamba nti bamulina mu kaduukulu  era bamunoonyerezaako  ku misango gy’okutta omukozi we n’okwokya abaana b'e Buddo.

Okusinziira ku Iso, bagamba nti baafuna obujulizi okuva mu batemu abagamba nti Birungi ye yabapangisa okukola ettemu lino.