Embeera ya Nambooze tennalongooka

By Musasi wa Bukedde

EMBEERA y’omubaka Betty Nambooze Bakireke ekyali mbi, abamujjanjaba bwe bategeezezza nti akyalina obulumi olw’ekizibu kye yafuna era bbo bakyalemedde ku kumutwala e Buyindi ayongere okujjanjabibwa.

Now 350x210

Eggulo bamuzzizzaayo mu kyuma ne bamukuba ebifaananyi ebiraga embeera y’ekyuma kye baamussa mu mugongo bwe kifaanana era bba Bakireke yategeezezza nti mukyala we tannaba kutereera kubanga talina bujjanjabi bwa njawulo bw’afuna mu ddwaaliro ly’e Kiruddu.

“Embeera twabagamba dda nti yeetaaga kutwala Buyindi nga lipooti y’omusawo bwe yalaga kyokka abaserikale bamulemedde. Kino ekikolebwa kubonyaabonya mubaka naye amazima akyawulira obulumi bwa maanyi,” Bakireke bwe yagambye.

Embeera ku kasenge k’eddwaaliro ly’e Kiruddu, Nambooze gy’ajjanjabirwa ekyali ya bunkenke ng’abaserikale abali mu ngoye ezaabulijjo be bamuvunaanyizibwako era tebamala gakkiriza bantu kumulaba wadde bannamawulire okuyingizaayo kkamera.

Aba Famire y’omubaka beekengedde nti poliisi byonna by’ekola eyagala kutwala mubaka mu kkooti kyokka obulwadde bukyabalemesezza.

Akulira eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba Baterana yategeezezza nti tebasobola kumala gakkiriza mubaka kutwalibwa Buyindi kubanga obulwadde babusobola era baamuteekako abasawo abakugu mukaaga abatunuulira obulamu bwe essaawa 24.

Kyokka balooya ba Nambooze aba Lukwago and Co. Advocates baawandiikidde akulira akakiiko akakola eddembe ly’obuntu ne bamusaba akozese amateeka akyalire Nambooze naye yeerabireko embeera embi gy’alimu.

Lukwago yategeezezza nti Poliisi eremedde Nambooze ate nga mulwadde ky’agamba nti kimenya amateeka ate nga palamenti yamukkiriza dda okuddayo e Buyindi okulaba abasawo abaamujjanjaba n’okuddamu okumwekebejja.

Nambooze ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Kiruddu eriri wansi wa Mulago era baamuzza ku mwaliiro ogwomusavu.