Yeefudde alinnyiddwaako emizimu n'alemesa Abachina abakola oluguudo okuyisaawo amayinja

By Ssennabulya Baagalayina

MULEKWA agambibwa okulinnyibwako omuzimu gwa nnyina asattizza Abapoliisi abagenze okukakkanya abooluganda abeesuddemu jjulume ne basuula emisanvu mu kkubo ne balemesa mmotoka z'Abachina okuyisaawo amayinja agakola oluguudo lwa Bukalasa-Ssembabule.

Zimu6 350x210

Katemba ono abadde ku kyalo Kawembero-Natitta e Kalungu Poliisi ekuliddaa DPC Geoffrey Egwangu gye bagenze okuzza embeera mu nteeko.

Bamulekwa b'abagenzi; Joseph Ssozi ne Proscovia Nnakyeyune be baasimye ekkubo ne bakumawo ekyoto kwe bagumbye n'okufumbako obuugi.

Poliisi bw'ezze n'ezzaako Joseph Ssessanga ne George Galabuzi ku bbali n'ebasisinkanya ne Nsubuga akiikiridde Abachina ebawooyewooye baggyewo emisanvu.

Wano Alisteera Nantambi we yabagukidde nti aliko omuzimu gwa nnyabwe Nakyeyune n'abalumbagana abataagule.

Ataamye n'akwata n'omuggo nga bw'akannudde amaaso okutuusa Poliisi bw'ebeetegudde nti egenda kwogeraganya n'Abachina nti babasasule.

Charles Sseggujja, Robert Ssemmambo,Fred Kaliisa ne Paskazia Nnaggujja bagambye nti baaguza Abachina yiika z'oluzozi 4 ku bukadde 150 ne basasulwako ekitundu nge zaasigala bababuzaabuza.