Essomero lya Jireh Rainbow e Kiwanga liggaddwa badayirekita baalyo ne bakwatibwa

By Henry Nsubuga

Essomero lya Jireh Rainbow e Kiwanga liggaddwa badayirekita baalyo ne bakwatibwa

Muk1 350x210

POLIISI y’e Mukono ekutte badayirekita b’essomero lya Jireh Rainbow erisangibwa ku kyalo Kiwanga mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono ng’entabwe eva ku bano okutabuka ne batandika okusojjagana ekyaviiriddeko n’essomero okuggalwa.

Omu ku baddayirekita nnanyini bizimbe Pr. Joy Asiko alumiriza dayirekita munne Dr. Alvin K. Watson ng’ono ye nnanyini nteekateeka ya Laquinta egambibwa okusolooza ku bazadde ensimbi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’abasuubiza okubasomeseza abaana baabwe nti yamusuulira abaana 300 okuli abato ennyo okuli n’abali wansi w’emyaka 5 kyokka n’amubulako okumala wiiki bbiri nga taleseewo kyakulya wadde obujjanjabi. Kigambibwa nti abazadde babadde baggyibwako ensimbi wakati w’emitwalo 25 ne 30.

Ye Watson azzenga akwatibwa ku misango egy’enjawulo egy’ekuusa ku kujja ensimbi ku bazadde ng’abasuubizza okubasomeseza abaana. Ono era yakyusa n’amannya nga gye buvuddeko yali ayitibwa Ssemugabi.

 
Ku Lwomukaaga abazadde baasiibye ku ssomero nga basobeddwa oluvannyuma lw’okuweerezebwa obubaka obubayita banoneyo abaana ku masimu gaabwe nga kiva ku kuba nti essomero lino lyaggaddwawo ab’obuyinza.
 
Okuggala essomero lino kyaddiridde Asiko okugenda mu b’obuyinza ne yeekubira enduulu ng’avunaana Watson okugaana okuteeka mu nkola bye bakkanyaako ng’ebbanga lyonna okuva okusoma lwe kwatandika abaddenga amuyita agende ku ssomero babeeko bye bakkanyaako nga takkiriza.
 
Oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bazadde b’abaana ne bayitibwa babatwale ku ssaawa 3 ez’okumakya, essomero teryafumbye mmere ng’abayizi naddala abato nga bazadde baabwe tebazze baalabiddwako nga bakaaba olw’enjala eyabalumye olunaku lwonna.
 
Ab’eby’okwerinda okuviira ddala ku kyalo ne poliisi baayingidde mu nsonga eno okulaba bwe bakkakkanya embeera.
 
Ssentebe w’ekyalo, Musa Kabega Talutambudde yatuuzizza abazadde n’abasomera ebbaluwa bbiri ezaawandiikibwa ekitongole ekirambuzi ky’amasomero ekya munisipaali y’e Mukono nga kiggala essomero lino nga lyasooka kuggalwa mu mwaka gwa 2014 ssaako omulundi ogwasembyeyo ogwa luno nga Asiko yeekubidde enduulu gye bali.
Kabega yabadde akyakubiriza olukiiko ne zireeta Watson olwo abazadde abaabadde bawotiokeredde ne baddamu amaanyi n’essuubi.
 
Watson yalumirizza Asiko okumuggyako ssente obukadde obusoba mu 25 nga bakkaanyizza abayizi basomere mu ssomero lino mbu era lyali mu mbeera mbi nnyo naye n’aliddaabiriza okuli n’okuzimbako ekizimbe ekipya kyokka nga kati yasazeewo okumwefuulira. Yatiisizza okumukuba mu mbuga amuliyirire olwo ekimuwaga kimugweko.

Ab’eby’enjigiriza mu kuggala essomero lino baategeeza nga bwe litalina lukusa luddukanya kisulo kisuza bayizi basoba mu 300 ng’ate n’ebisulo mwe basula tebiri ku mutindo ng’abaana abato ennyo babasuza ku butanda obw’obusatu ekitakkirizibwa ate nga n’ebizimbe ebirimu ebisulo tebiri ku mutindo.

 
Watson yasinzidde wano n’alagira abazadde okugenda mu bisulo abaana gye babadde basula ng’era abadde abaleetedde bbaasi za pioneer okubatwala ku ssomero eddala e Seeta.
 
Bano balabiddwako nga batoba okujjayo ebintu by’abaana baabwe mu bisulo nga n’abamu babyetikka ku mitwe.
Wabula ate wakati mu kujjayo ebintu mu kanyigo ak’amaanyi, DPC w’e Mukono Rogers Sseguya n’ab’eby’okwerinda abalala okuva e Mukono baatuuse ne basazaamu eky’abazadde okutwala abaana olwo ate embeera n’eva mu nteeko ng’abazadde bagamba balina okutwala abaana baabwe. Bano bakira batuula bufoofofo nga gye byaggweredde nga baddayirekita ababiri Asiko ne Watson bakwatiddwa ne bateekebwa ku kabangali ya poliisi.
 
 
DPC Sseguya yagambye nga bw’agenda okubavunaana olw’okuba baaabadde bagaanye okutegeeza poliisi ekituufu ku nsonga ezituuse okutabula abazadde ne kiteeka n’obulamu bw’abaana mu matigga.
 
Wabula oluvannyuma lw’akabanga ng’abazadde bagaanye okukkakkana, DPC bano yasoose n’abata   ne bakwasanya eky’okukwasa abazadde abaana baabwe n’alabula nti ssinga mu mbeera eno wanabaawo omwana an’abulira mu kavuyo ako, ajja kuba avunaana abaddukanya essomero.