Gav't yaakwewola obuwumbi 300 ziyambe okutumbula okulima omuceere

By Muwanga Kakooza

GAVUMENTI egenda kwewola obuwumbi obukununkiriza mu 300 ziyambe mu by’okutumbula okulima omuceere ne kasooli wamu n’okwongera ku mutongo n’obungi bw’amata mu ggwanga.

Mroyukuandhiswifeandchildreninricegardenharvesting1200640 350x210

GAVUMENTI egenda kwewola obuwumbi obukunukkiriza mu 300 ziyambe mu  by’okutumbula okulima omuceere ne kasooli wamu n’okwongera ku mutongo n’obungi bw’amata mu ggwanga.

Ezimu ku ssente zino zigenda kuyamba okutumbula eby’okufukirira ebirime kiyambe mu kulima omuceere gw’okulukalu ne mu ntobazi.

Ensimbi zigenda kussibwa mu pulojekiti emanyiddwa nga ‘’Value Chain Development Programme’  era zaakuggyibwa mu bbanka ya ADB.

Zaayisiddwa olukiiko lwa baminisita era gavumenti egenda kuleeta mu Palamenti okusaba kwayo ng’eyagala ababaka bagikkirize okuzeewola.

Zigenda kuyamba okutumbula eby’okulima omuceere e Sironko, Bulambuli ne Bukedea mu Buvanjuba bwa Uganda nga bano balima muceere gwa ntobazi.

Ate e Gulu, Pader, Oyam, Amolatar ne  Kamuli wagenda kutumbulwayo okulima omuceere gw’oku lukalu.

Ng’oggyeeko eby’okufukirira ebirime ensimbi zigenda kuyamba abalimi okukola ku ngeri y’okukuumamu ebirime nga bamaze okubikungula nga gavumenti ebazimbira sitoowa we basobola okutereka ebirime byabwe.

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo yagambye nti Uganda erima kasooli mungi kyokka agamu ku mawanga g’ebweru tegaagala kumugula nga gagamba tali ku mutindo olw’ennima n’ensigo ezitali ku mulembe.

Bagamba nti  n’enkuuma y’empeke eziba zikunguddwa olumu eba mbi.

Uganda kasooli kati esinga kumutunda mu mawanga ga Afrika kyokka eyagala omutindo gweyongereko emutunde ne Bulaaya.

Gavumenti era egenda kussaawo ekifo ekikebera omutindo gw’amata nga kisangibwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebikolebwa mu ggwanga ekya ‘’Uganda National Bureau of standards’.