Abazadde bakubiriziddwa ku kuweerera abaana

By Vivien Nakitende

AKULIRA abasunsuzi b’amawulire mu lupapula lwa Bukedde, Samuel Kaisrye akubirizza abazadde ku kuweereza abaana n’ategeeza nti abantu abasinga okutigomya eggwanga beebo abataasoma.

Grace7 350x210

Bino abyogeredde ku ssomero lya Grace P/S e Vvumba mu disitulikiti y’e Luweero, ku mukolo gw’okulayiza abakulemebze b’abayizo abaggya ab’essomero lino, n’ategeeza nti abaana abatasomye beebo abeenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka nga beefubakp okunoonya ssente, naasaba abazadde okufaayo okuweerera abaana.

Akubirizza abazadde wamu n’abasomesa okuyigiriza abaana ennimi zaabwe ennanai nti kubanga ye zzaabu ajjja okubanguyiza okuyiga ebintu n’ennimi endala zonna zebeetaaga okutegeera, nti ate ennimi ennansi kya bugagga ekifumbekeddemu obuwumbi bwa ssente singa omuntu aluyiga bulungi.

Abayizi ba kkwaaya y'essomero nga basanyusa abazadde ku mukolo gw'okulayiza abakulembeze baabwe

Oluvannyuma yalayizza abayizi abapya abaalondeddwa bannaabwe okuyambako abasomesa okukulembera essomero n’okusiima abakulembeze abakadde ng’abawa amabaluwa agabeebaza emirimu gye balese bakoze.

Asabye baakulembeze abapya okukulembera obulungi bannaabwe ate n’abayizi n’abakubiriza okuwa ekitiibwa abakulembeze baabwe be bataddemu obwesige baasobole okutuukiriza obulungi emirimu gyabwe.

 Abayizi ku mukolo gw'okulayiza abakulembeze baabwe

Abakulembeze abakadde nabo baawaddeyo obukulembeze mu butongole nga bakwasa abapya fayiro n’okubateekako baagi y'obukulembeze, akabonero akalaga okuwaayo obukulembeze mu mirembe.