Olukiiko lwa Lukwago luyiise

By Musasi wa Bukedde

Olukiiko lwa Lukwago luyiise

Jen1 350x210

DAYIREKITA wa Kampala, Jennifer Musisi n’abakozi ab’ekikugu bajeemedde Loodi meeya Erias Lukwago ne bagaana okwetaba mu lukiiko lwa KCCA nga bagamba nti tewali bwetaavu. Ekiddiridde lwe lukiiko okuyiika.

Lukwago yabadde abayise eggulo mu lukiiko lwa KCCA olutuula mu City Hall battaanye ku mateeka agafuga obutale mu Kampala, emisaala gy’abakozi, amateeka agagenda okufuga bodaboda ne takisi n’okuddamu okulonda obukiiko obuddukanya emirimu.

Lukwago yayita olukiiko luno nga June 25 omwaka guno kyokka omumyuka wa dayirekita, Samuel Sserunkuma bwe yafuna ebbaluwa n’awandiikira minisita wa Kampala Beti Namisango Kamya ng’aluyimiriza.

EBBALUWA YA SSERUNKUUMA Yawandiise ng’ategeeza Lukwago nti ekitongole tekirina ssente ziyimirizaawo lukiiko luno ate n’ensonga ze bagenda okuteesaako tezeetaagisa mu lukiiko oluteesezebwamu ebintu ebiguddewo amangu (Special council) era nti tebagenda kulwetabamu.

Yajulizza nti waliwo n’obutakwatagana wakati wa bakansala n’abakozi ba Gavumenti obwetaaga okusooka okuggwaawo nga tebannatandika kutuula wamu mu nkiiko za kkanso ekulemberwa Lukwago.

Ebbaluwa ya Sserunkuuma yatabudde Lukwago, bameeya ba munisipaali ne bakansala bwe yagibasomedde ne bagitesaako mu bukambwe. Wakati mu kuteesa poliisi yayiiriddwa mu nkuubo za KCCA okutangira okutuuka ewa Jennifer Musisi era ba kansala baakomye mu ofiisi ya mumyuka we Sserunkuuma.