Gitawo yeepikira mpaka z'eby'emisono

By Musasi wa Bukedde

Ng'empaka z'eby'emisono eza Abryanz Style & Fashion Awards zisembedde, Cameroon Giatwo ali mu kwogerezeganya nabategesi okumugatta ku mpaka z'omwaka guno.

Git2 350x210

Gitawo yeepikira mpaka z'eby'emisono, ayagala kudda mu kya Jack Pemba.

 

Omwaka oguwedde, Jack Pemba omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu mu Kampala yalaga amaanyi n’okwongera ebbugumu mu mpaka za 'Abryanz Style & Fashion Awards 2017' bwe yaziyiwamu obukadde 100.

 

Olw’ebbanga ly’amaze ng'asiriikiridde, atubidde mu bizibu ekireetedde n’abantu okulowooza nti yaggwaamu, Cameroon Gitawo avuddeyo agamba ayagala kudda mu kifo kye.

 

Ow’olugambo waffe atutegeezezza nti Gitawo (Chris Mbibo) omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa abamanyiddwa okuyingirawo mu ggwanga ne bavuganya mu kumansa ssente n’okulya esswagga ali mu kwogerezeganya ne Abryan omutegesi w’empaka zino okulaba nti yeegatta ku mpaka z'omwaka guno era asuubiza okuteekamu obukadde 50.

 

Wadde ddiiru tabannaba kugikutula, Gitawo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook  yagambye nti “ab’e South Africa temufaayo ku mulundi guno ng’enda kubakiikirira mu mpaka za Abryanz”

 

Waliwo omu ku mikwano gya Gitawo ataayagadde kumwatuukiriza mannya eyatugambye nti Gitawo yasoose kwagala kuteekebwa ku lukalala lw’abagenda okuvuganya ku ngule y’omwambazi w’emisono asinga oba sereebu w’omwaka kyokka olw’okutya okumusinga bino yabivuddeko.

 

Singa ddiiru eyitamu, Gitawo eyeetanira eby'omisono ng'ogyeko okulaga ky'alinawo ajja kufuna omukisa okulinnya ku siteegi ey’omulembe okugaba engule eri abawanguzi.