Amagye googedde ku mbeera y'okulwala kwa Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Amagye googedde ku mbeera y'okulwala kwa Kayihura

Kya1 350x210

Eggulo mu Bukedde, twakulaze engeri Gen. Kayihura gye yalwalidde mu kaduukulu k’amagye ne bamugaana n’okulaba omusawo we ng’amagye gagamba nti ge galina abasawo abasinga obukugu mu Uganda.

Ensonda okuva e Makindye gye baamusibira kati wiiki ssatu eziyise zaategeezezza nti, embeera tennaba kutereera nnyo nti kyokka, tetiisa nga bwe yabadde ku Lwokuna ne ku Lwokutaano.

Kayihura yafunamu okulumizibwa mu mubiri ne mu lubuto oluvannyuma lw’okufuna ssennyiga abasawo ne bamutegeeza nti yali alina ekiyitibwa ‘yinfekisoni’. Yabadde asesema nga yenna n’omubiri munafu kyokka ensonda zaategeezezza nti yafunyemu obuweerero oluvannyuma lw’okukolebwako abasawo b’amagye okuva e Bombo.