Kale Kayihura alaajanidde abantu b’e Kisoro

By Musasi wa Bukedde

GEN. Kale Kayihura gyali mu kkomera ly’amagye e Makindye byongedde okumusobera. Akakodyo k’okusiriikirira buli kye bamubuuza akakozesezza ebbanga kumpi lya mwezi mulamba naye kirabika kagaanyi okukola. Kati asazeewo kuyita mu mukyala we Angella Kayihura.

Level 350x210

Okusinziira ku nsonda mu nkambi e Makindye gye baamusibidde, Kayihura yatumye mukyala we amugambire bannabyabufuzi b’e Kisoro bagende bamutokotere Pulezidenti Museveni abeeko ky’ayogera ku misango egimuvunaanibwa olwo afune ekifaananyi ekituufu abeeko w’atandikira.

Kigambibwa Kayihura alowooza nti Pulezidenti Museveni e Kisoro gye bamuzaala (Kayihura) akyalinayo abantu ab’enjawulo bakyakkiririzaamu era bwe banaamusisinkana baggya kusobola okumumatiza nti talina musango bamusibira bwereere ebbanga lino lyonna.

Mu kiseera ky’ekimu Kayihura yasabye ab’e Kisoro bano bamatize pulezidenti Museveni amusisinkane mu buntu nga tebanamutwala mu kkooti kubanga akimanyi nti bw’anaabaako byamubuuza n’amunnyonnyola, ajja kutegeera ekituufu akimanye nti empalana ze zisinze okwetobeka mu nsonga zino.

Kayihura ne banne okuli abaali abaserikale ba Flying Squad eyali eduumirwa Herbert Muhangi n’abalala bakuumirwa ku kitebe kya miritale e Makindye era nga basuubirwa essaawa yonna okutwalibwa mu kkooti y’amagye e Makindye batandike okuwerennemba n’emisango eginaabaggulwako.