Bagguddwawo ekifo ky'okwolesa eby'obuwangwa bya Bannayuganda e China

By Muwanga Kakooza

ENKOLAGANA ya Uganda ne China eri mu ggiya Omuchina nnagagga bw’agguddewo ekifo ky’okwolesa eby’obuwangwa bya Bannayuganda e China.

Kadagachina1 350x210

Ekifo kino ekiyitibwa ‘’Uganda Cultural Park’’  kigguddwawo ku luguudo Shapping mu disitulikiti y’e Kaifu mu ssaza  ly’e Hunan e China.

Era kyatandikiddwawo Omuchina fugge, Bob Wanga nga kitudde ku bwaguuga bwa yiika 40.             

Kigenda kwolesebwamu eby’obuwangwa bya Bannayuganda, ebibajje by’ebisolo by’omu nsiko ebiri  mu Uganda n’ebintu ebirala ebikwata ku nsi eno n’ekigendererwa ky’okutumbula eby’obulambuzi.             

Wang yagambye nti ekifo kino bagenda kukyongeramu ebintu ebirala okuli ebyafaayo bya Uganda, ebibajje, ebintu ebikolebwa mu Uganda era nga basuubira n’okussaamu ensolo z’omu Uganda gye bujja.

N’agamba nti lino ligenda kuba kkubo ly’okumanyisa Abachina ebifa ku Uganda. 

Kadaga asiimye ekifo kino n’agamba nti kigenda kwongera okumanyisa ebifa ku Uganda kuba kijjumbiddwa nnyo Abachina bangi.

Wabula Kadaga asabye Abachina okujja mu Uganda okulabira ddala ebifa mu ggwanga lino.             

Ategeezezza nti Uganda n’essaza ly’e Hunan gagguddewo enkolaga mu by’obulimi, obulunzi , okusima eby’obugagga bw’omu ttaka , eby'amakolero n’ebintu ebirala n’asiima abakulembera essaza lino olw’okuyamba okumanyisa ebikolwa mu Uganda.   

Kadaga era akunze Bannayuganda okujjumbira okulambula ensi yaabwe.