NRM yeewaanye okuwangula Besigye gy'azaalwa mu kulonda LC1

By Muwanga Kakooza

ABA NRM beewanye nti bawangudde Col. Kiiza Besigye gye bamuzaala e Rukungiri mu kulonda kwa bassentebe ba LC1 okuwedde.

Latest07pix 350x210

ABA NRM beewanye nti bawangudde Col. Kiiza Besigye  gye bamuzaala e Rukungiri mu kulonda kwa bassentebe ba LC1 okuwedde.

Omwogezi wa Ssabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba, yategeezezza nti ebyavudde mu kulonda  mu magombolola 16 ku ago 17 agali e Rukungiri biraga nti NRM yawangudde ebifo 419 ate ab’oludda oluvuganya ne bawangulako 217.

Kyokka bagamba nti bino tebiriiko bya ggombolola y’e Nyarusanje NRM gy'esinga obuwagizi.

E Kasese ewava akulira oludda oluvuganya gavumenti , Winnie Kiiza, NRM yafunye 481 ate ab’oludda oluvuganya ne bafuna 753.

Eno yategeezezza nti wadde ab’oludda oluvuganya baawangudde kyokka guno mugatte gwa bibiina byonna ebivuganya ekiraga nti NRM eyabadde obwannamugina ekyabalinako enkizo.

Yayongeddeko nti NRM yawangudde pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat gy'azaalwa mu ggombolola mw'ava  e Kanyumu mu disitulikiti y’e Kumi. NRM yafunye ebyalo 15, FDC bibiri (2) n’abatalina ludda ne batwala bisatu (3).

Mu kitundu kya Polof. Ogenga  Latigo eyali akulira oludda oluvuganya gy’ava e Kalongo, NRM yafunye ebifo 17 ku 29 ebiriyo. Ku bino FDC yabaddeko na kkumi, aba NRM abeesimbyewo ku lwabwe babiri.

Ate e Gulu, pulezidenti wa DP Nobert Mao  n’omukungu wa FDC Reagan Okumu gye bava NRM yawangudde 57 ku bifo 141. DP yafunyeeyo bina byokka ng’ate mu beesimbyewo ku lwabwe kwabaddeko n’aba NRM.

Bagamba nti bino byonna biraga nti NRM abantu bakyagirinamu obwesibwa. Era n’agamba NRM yawangulidde waggulu mu bifo awava abaawagira okukyusa Konsityusoni okuggyamu ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okuli Raphael Magyezi ne Simeo Nsubuga.

Ssabawandiisi w’ekibiina, Justine Kasule Lumumba yayozaayozezza NRM olw’obuwanguzi buno.