Ebyokwerinda mu kwanjula kwa Judith Babirye binywezeddwa

By Josephat Sseguya

KU Lwomukaaga luno, omubaka Judith Babirye (Mubaka omukyala owa Buikwe) lw’alaga bakadde be omwami we omupya.

3793146623479972185513746667113214305632256n 350x210

Babirye ayanjula Paul Musoke Ssebulime (Mubaka Njeru Munisipaali) ku mukolo ogugenda okubaako obukuumi obungi nga kirowoozebwa nti omuwendo gw’abako n’abagenyi gujja kuba gwagala kwenkana gw’abakuumi.

Ensonga y’ebyokwerinda era y’esinze okukuumira abantu mu kibululu omuli abagenyi b’awaka abasinga obungi abagenda okwaniriza abako n’abako bennyini abasinga nga tebamanyi kifo kwanjula kuno gye kuli.

Waliwo ab’omunda abakimanyi naye abasigadde bamanyi kimu nti ekifo kiri Kawuku ku luguudo lw’e Ntebe.

Etteeka lyayise nga buli muko agenda kusisinkana ku lw’e Ntebe bakung’ane olwo babatwale lumu nga bagoberera mmotoka ekulembeddemu gy’eraga gye balaga.

Abagenda okwaniriza abako abatannamanya kifo bo baategeezeddwa nti amasimu gaabwe galina okubaako ku Lwomukaaga (leero nga 28 July, 2018) nga bagenda kukubirwa essimu bategeezebwe ekifo.

Abako basuubirwa okuleeta ebirabo ebingi olw’ekitiibwa ky’abagole bombi okuba ababaka ba Palamenti n’engeri gye gusuubirwako abagenyi abangi ab’ebitiibwa olw’okuba nga bombi bannabyabufuzi.

Wadde ng’okukkaanya kw’abaali abaagalwa b’abagole bombi kwaliwo omuli Babirye okwawukana ne Samuel Niiwo mu butongole saako Musoke okukkaanya ne Lukia Ntale mu mirembe, eby’okwerinda binywezeddwa nnyo kuba ensonda zaategeezezza nti wandibaawo abawagizi baabwe abayinza okussaawo akasasamalo mu maaso g’abagenyi abangi nga n’emikolo gisuubirwa okulagibwa obutereevu ku ttivvi ez’enjawulo.

Ssaalongo Henry Mukooza nga ye taata wa Babirye y’asuubirwa okukulembera ekibinja ekiva e Buikwe era abalonzi ba Babirye, okubatuusa omukolo gye guli balinde abako.