"Abavubuka mwewale okukopperera abagagga"

By Musasi wa Bukedde

Omukungu w’ekibiina kya Lotale ku mutendera gw’ensi yonna, Kenneth Wycliffe Mugisha, asabye abavubuka bakomye omuze gw’okudiibuuda ensimbi.

Kuba3 350x210

Bya Mathias Mazinga

Yanenyezza abavubuka abamu be yagambye nti basusse okukopperera abagagga, ne bakomekkereza nga ssente zaabwe bazimalidde mu bintu ebitabagasa.

“Kyannaku nti abavubuka baffe bangi abaakatandika okukola tebannategeera bukuli buli mu kutereka ssente. Osanga omuvubuka eyaakafuna omulimu, ng’afuna ssente ezitasukka kakadde, ng’anywa omwenge gwa 'Black Label' oba 'Blue Label', olw’okuba alabye nze nga ngunywa. Nze omwenge ng’ogwo nsobola okugunywa ne nsigala nga sikoseddwa kubanga nnatandika dda okukola, era nnina ne bizinensi zange nnyingi ezindeetera ensimbi. Ggwe eyaakatandika okukola, era ng’omusaala ofuna kakadde kamu oba obutawera, bw’oneeteeka ku mwenge guno, omusaala gwo gwonna oyinza okugumalirawo mu kiro kimu kyokka,” Mugisha bwe yannyonnyodde.

Mugisha bino y’abyogeredde ku ssomero lya Saint Mark’s College, Namagoma (SMACON), mu disitulikiti y’e Wakiso, bweyabadde atongoza konsitityusoni y’ekibiina ky’abaasomerako mu ssomero lino.

Omukolo gw’abaddewo ku Lwomukaaga nga July 21. Gwetabiddwako abaali abayizi mu ssomero lino, abasomesa, abazadde, n’abaagaliza essomero lino ebirungi.

Omukungaanya w’olupappula lw’amawulire olwa Bukedde, era nga y’akulira empapula zonna eziri mu nnimi ennansi ezifulumizibwa Vision Group, Godfrey Kulubya, naye omukolo guno yagwetabyeko.

Mugisha yasabye abayizi, n’abaasomerako e Namagoma, bulijjo okubeera n’ebirooto ebinene, ate n’okwekkiririzaamu, basobole okugenda mu maaso.

 Abayizi nga balya mu ndago

“Nze bwennali omuvubuka naluubiriranga bintu binene byoka. Kino kyannyamba okukola ennyo n’enfuna ssente. Nasobola okuzimba ennyumba yange eyasooka nga nnina emyaka 25. Ennyumba eno nagizimba Muyenga, mukifo eky’ebbeeyi, ewaasulanga baminista nga Dr Crispus Kiyonga ne Tom Butime. Mubutuufu bwebandabanga nga nnambula, baali tebakkiriza nti ekizimbe kyange; nga balowooza nti njizimbira Nkubakyeeyo ali e Bulaaya.”

Mugisha oluvannyuma yeebazizza abaddukanya essomero lino olw’okufaayo okukungaanya abaali abayizi baalyo, n’okubawa emirimo.

Dayirekita w’essomero lino, Daniel Ddamulira yategeezezza nti ensonga gye baliko ye y'okuzimba ekibiina ky’abaasomerako mu ssomero lino eky’amaanyi, ekijja okukolerera enkulaakulana y’essomero lino emyaka ataano egijja mu maaso.

 

“Essomero lyaffe lyakamala emyaka 15 gyokka mu kisaawe ky’ebyenjigiriza. Awo nno, tetuyinza kugamba nti tulina bannaggagga, oba bakakensa abagundiivu bangi. Kyokka tusazeewo okukung'aanya buli alina akakwate ku ssomero lino, naddala abaalisomeramu, tusobole okubateekamu omwoyo gw’okulyagala, n’okulikolerera.”

 

Omukolo gwatandise n’okusaba okwakulembeddwa Canon Diana Nkesiga eyavudde mu St. Francis Chapel, Makerere University, naye eyasabye abaasomerako mu ssomero lino obutabula ku bannaabwe, wabula bulijjo basigale nga bawuliziganya, n’okukolagana.

Heedimasita w’essomero lino, Paul Kaye Senfuma, ne ssentebe w’olukiiko oluliddukanya, Peter Jemba Kaggwa, beebazizza abazadde, n’abayizi, olw’okwagala essomero lino.

Ekibiina ky’abaasomerako mu ssomero lino kirina abamu ku basomesa, n’abayizi, be kyawadde ebirabo nga kibasiima okukola obulungi ne baweesa essomero lino ettutumu, n’ekitiibwa.

Omulamwa gw’omukulo gwabadde: Okukolagana kwaffe: Weekwate ku munno, Yiga, Kola.