Besigye akkirizza okuwangulwa mu kalulu k'e Bugiri n'ayozaayoza Basalirwa

By Muwanga Kakooza

FDC ekkirizza okuwangulwa mu kalulu k’okulonda omubaka wa munisipaali y’e Bugiri mu palamenti n’esaba Asuman Basalirwa owa JEEMA eyameze banne okuddamu okugatta be yawangudde naddala ab’oludda bongere okulwanirira eggwanga.

Fdckizzabesigye091 350x210

Eyali pulezidenti wa FDC era eyakulembedde enkambi y’ekibiina kino mu kuyiggira omuntu Eunice Namatende akalulu Col. Dr. Kiiza Besigye agambye: ‘’Buli kintu ekiggwa obulungi kiba kirungi.Tuyozayoza Asuma Basalairwa olw’okuwangula okulonda kw’e Bugiri. Ky’ekiseera oddemu okukumakuma bano olutalo (lw’okununula eggwanga) lukwajje’’

Obubaka bwa Besigye yabutadde ku mukutu gwe ogwa ‘Twitter’. Asuman Basalirwa eyabadde awagirwa omubaka wa Kyadondo East , omuyimbi   Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine yawangudde banne be yesimbyewo naye okwabadde Francis Okecho eyabadde awagirwa Pulezidenti Museveni ne Namatende eyabadde owa FDC.

Okecho yakutte kyakubiri ate Namatende kya kusatu. Enkambi za JEEMA ne FDC zaalemwa okukwatagana okusimbawo omuntu omu ow’oludda oluvuganya ne basalawo zaabike emipiira okutuusa Asuman Basalirwa bwe yalaze nti y’asinga.

Basalirwa yafunye obululu 3,928, Francis Okecho owa NRM n’afuna 3,267, ate Namatende owa FDC n’afuna 928.