Kawukuumi' ali mu poliisi yeetaaga okutunuulirwa enkaliriza - mukugu

By Musasi wa Bukedde

MUNNAYUGANDA omukugu mu kunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Bungereza , Richard Musaazi, awabudde nti poliisi yeetaaga okutunuulirwa enkaliriza kuba abamu ku bagirimu basobola okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga ‘’beekwese mu yinifoomu.’’

Musaasizibungereza1 350x210

‘’Poliisi erimu abali b’enguzi, abatemu, n’abaggye ssente ku bantu mu lugezigezi, abazibira abazzi b’emisango, abatalugunya abantu n’okukola effujjo n’ebikolwa ebirala abantu olumu bye batasobola kulaba mangu era obutafaanana na bazzi ba misango balala, abaserikale bano kyangu obutakwatibwa nga bakoze emize gino,’’ Ricahrd Musaazi bw’agamba.             

Musaazi bwe yabadde ayogera  n’omusasi waffe wiiki ewedde, yategeezezza nti poliisi y’ekyasa kino terina njawulo nnene n’obubinja bw’abazzi b’emisango mu nneeyisa okuggyako nti bbo kyangu okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka ne batakwatibwa n’okuvunaanibwa.           

Musaazi ebiriwo mu ggwanga abigeraageranya ku firimu ezimanyiddwa  nga ‘The Godfather movies’ eziraga ekibinja ky’abasajja abatemu n’abaggya ssente ku bantu mu lugezigezi kyokka ng’ekifaananyi ekiweebwa kibasiiga akazigo n’okubagaazisa abalabi era abantu batuuka ekiseera ne balaba nga tewali njawulo wakati waabwe  n’abakungu ba gavumenti. 

Mu firimu zino, Musaazi agamba nti enjawulo ntono wakati w’abakungu ba gavumenti n’ebibinja by’abamenyi b’amateeka.

Ayongera nti mu nsangi zino poliisi yeefuula ekuuma abantu era beekweka mu kino okukola emize emirala ng’okusabiriza ssente, okukola effujjo n’emize emirala nga kizibu abantu okubateebereza .

‘’Poliisi bw’eba egoba abamenyi b’amateeka abantu babayambako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe buno sso ng’olumu ababikola nabo baba ‘misege’. Era agamba nti abantu balina okuba n’eriiso eryogi okulaba abantu bano.