Aba Zimbabwe basuze balinda ebinaava mu kalulu k'ebyefaayo

By Musasi wa Bukedde

BANNANSI ba Zimbabwe basuze balindirira ebyavudde mu kalulu ak’ebyafaayo akakubiddwa ku Mmande omulundi ogusookedde ddala nga Robert Mugabe 94 teyeesimbyewo okuva mu 1980 Zimbabwe lwe yafuna ebwetwaze.

Chamisaandmnangagwa 350x210

BANNANSI ba Zimbabwe basuze balindirira ebyavudde mu kalulu ak’ebyafaayo akakubiddwa ku Mmande omulundi ogusookedde ddala nga Robert Mugabe 94 teyeesimbyewo okuva mu 1980 Zimbabwe lwe yafuna ebwetwaze.

Abantu abasoba mu bukadde butaano be basuubirwa nti baakubye akalulu akaabadde ak’obunkenke.

Abantu 23 be beesimbyewo ku bwa Pulezidenti kyokka okuvuganya okw’amaanyi kwabadde wakati wa Pulezidenti Emerson Mnangagwa 75 ow’ekibiina ekiri mu buyinza ekya ZANU-PF ne Munnamateeka era Pastor Nelson Chamisa 40 ow’ekibiina ekisinga obunene ku ludda oluvuganya ekya Movement for Democratic Change (MDC).

Mnangagwa y’abadde mu buyinza okuva November 2017, amagye lwe gaawamba Mugabe ne gamumaamula mu buyinza mwe yali amaze emyaka 37.

Obusungu obw’okumuggya mu Ntebe, yabusiba ku mutima n’okutuusa kati era yalangiridde ku Ssande ng’enkya kulonda nti akalulu ke agenda kukawa Chamisa ow’oludda oluvuganya naye ssi Mnangagwa gwe yayise ‘omubbi w’entebe’.

Ebyavudde mu kulonda bisuubirwa okulangirirwa obutasukka Lwakusatu.

Abalonzi abeewandisa bali 5,635,706 ng’ebifo ebironderewamu biri 10,985.

Amateeka ga Zimbabwe galagira okulangirira ebivudde mu kulonda obutasukka ssaawa 48.

Ssinga wanaabula aweza obululu obusukka mu bitundu 50 ku 100, akakiiko k’Ebyokulonda aka Zimbabwe Electoral Commission (ZEC) kalina okutegeka okuddamu okulonda nga September 30, 2018.