Omukuumi asse munne

By Musasi wa Bukedde

Omukuumi asse munne

Web1 350x210

ABATUUZE b’e Lwemwedde e Masuuliita mu disitulikiti y’e Wakiso baaguddemu ekikangabwa omukuumi ku kkampuni ya Stonecom Quarry ekuba amayinja bwe yakubye mukuumi munne essasi eryamuttiddewo.

James Wasswa Kisuule omu ku batuuze abaasoose okutuuka mu kifo awaabadde obutemu buno yagambye nti zaabadde ssaawa 2:00 ez’oku makya ku Ssande ne bawulira essasi erivuga.

Baasitukiddemu ne bagenda mu kifo gye baawulidde essasi lino ne basanga omukuumi w’ekitongole ekikuumi ekya SGA security Company ng’adduka.

Baamubuuzizza ogubadde n’abategeeza nga bwe waliwo mukuumi munne Abdudarah Mohammed 24, akubye munne James Odong 27, essasi erimusse ng’ ono abadde akuuma naye ku kkampuni ya Stonecom Quarry Company.

Kisuule yagambye nti baategeezezza poliisi y’e Masuuliita eyatandise okukola omuyiggo gwa Mohammed ne bamusanga ng’alinnya bodaboda e Bugujju agende e Masuuliita.

Olwalabye poliisi n’abuuka ku bodaboda n’adduukira mu nsiko gye baamukwatidde. Akulira Poliisi y’e Masuuliita Martin Karekyezi yategeezezza nti amaze ebbanga ng’abuuza kkampuni eno ku bakuumi bano kyokka nga buli lwatuukawo bamutegeeza ng’ ababakulira bwe bataliiwo