Judith Heard yeeyanjudde ku poliisi ku by’obutambi bw'obuseegu

By Eria Luyimbazi

MWANA muwala Judith Heard yeyanjudde ku poliisi n’akola sitatimenti ku bifaananyi bye bye yeekubya ng’ali bwereere ne bisaasaanira emikutu gye yintanenti naddala ku WhatsApp.

Yaya 350x210

Judith Heard nga y’omu ku bawala abalya obulamu mu Kampala yeeyanjudde ku poliisi ya CPS ku Lwokubiri n’akola sitatimenti ng’awerekeddwaako Looya we James Katono okuva mu balooya ba Nabbaale and Co. Advocates.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Judith Heard abadde anoonyezebwa annyonnyole engeri ebifaananyi bye yeekubya ng’ali bwereere gye byasaasaanyizibwa.

Mu sitatimenti Judith Heard yategeezezza nti ebifaananyi bino yabyekubisiza waka n’abiteeka ku laptop ye wabula baagimubbako ng’ateebereza nti abaagibba be baabisaasaanya n’ekigendererwa ky’okumuswaza.

Mu balala abanoonyezebwa ku by’okusaasaanya obuseegu kuliko Don Zella ng’ono ebifaananyi bye nabyo byasaasaana n’akatambi akagambibwa nti Jack Pemba ye yakasaasaanya.

Poliisi yaggulawo fayiro nnamba GEF 128/2018. Poliisi yatwala mu kkooti omuvubuka Ashiraf Kato amanyiddwa ennyo nga Ashiburg Kato n’omuyizi wa yunivasite y’e Mukono, Lillian Rukundo nga bavunaanibwa okusaasaanya obutambi bw’obuseegu.

Judith Heard yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.