Gwe bakwatidde mu bubbi emisana ttuku awonye okuttibwa

By Moses Lemisa

Gwe bakwatidde mu bubbi emisana ttuku awonye okuttibwa

Kab1 350x210

AFANDE munsonyiwe sigenda kuddamu kubba misana nange sitegedde kimbaddeko ne nnyingira enju y’omutuuze emisana

 Emma Oketa Oyot alula singa poliisi teyamutasiizza ku batuuze osanga ze zandibadde embuyaga ezikunta gaayi ono yasangiddwa lubona mu  nju y’omutuuze e Mulago ng’abba emisana ttuku.

yabadde atandise okukung'aanya ebintu afulume ne abamutayiiza ne bamukuba mizibu , yatwaliddwa ku poliisi gye yagiddwa n’atwalibwa muddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi olw’ebiwundu bye yabadde nabyo .