Tuli beetegefu okwetondera Lt. Gen Gutti - Looya wa Kitatta

By Musasi wa Bukedde

Tuli beetegefu okwetondera Lt. Gen Gutti - Looya wa Kitatta

Kit1 350x210

BALOOYA ba Abudallah Kitatta, omuyima w’akabinja ka bodaboda 2010, batuula bufofofo okulaba ngeri gye bayinza okusisinkanamu ssentebe wa kkooti y’amagye, Lt. Gen. Andrew Gutti ku bya munnaabwe eyagobeddwa.

Lt. Gen. Gutti ku Lwokubiri yagobye omu ku balooya ba Kitatta, Jimmy Muyanja mu kkooti n’amulagira obutaddamu kulinnya kigere mu kkooti y’amagye nga (Gutti) akyali ssentebe waayo, yamugattiddeko nti, ekiragiro kye yabadde asazeewo kya nkomeredde okuggyako nga ssentebe aliddako yalikikyusa.

Okugoba Muyanja mu kkooti, kyawadde balooya ba Kitatta akaseera akazibu era Shaban Sanywa abakulira yagezezzaako okwewozaako kyokka Gutti n’amutegeeza nti, Muyanja kye yabadde akoze si kya bugunjufu n’ekiragiro kye baabadde bayisizza yabadde takyasobola kukisazaamu.

Muyanja yafunye obutakkaanya n’omuwaabi wa Gavumenti Maj. Raphael Mugisha gwe baabadde balumiriza okukolera omujulizi Pvt. Richard Kasaija obubonero obumuwa ebyokuddamu ku bibuuzo ebyabadde bimubuuzibwa balooya ba Kitatta ku bujulizi bwe yawa mu kkooti eno.

Mu kwekandagga ng’alaga obutali bumativu, Muyanja yatudde wansi n’akuba emmeeza ekintu ekyanyiizizza Gutti n’amufumuula. Sanywa bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku kye bagenda okukola, yagambye nti, baagala kusisinkana Gutti nga wiiki eno tennaggwaako balabe oba anaakkiriza Muyanja okudda mu kkooti. “Twagala kugendayo looya amwetondere amukkirize akomewo mu kkooti kubanga omuntu yenna abeera avunaanibwa, abeera ne ddembe lye okwerondera looya gwayagala amuwolereze, Kitatta yatulonda kati omu ku ffe bw’agoba Kitatta y’aba afiirwa,” Sanywa bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, Muyanja ayinza okuba nga yakoze ensobi wabula ssentebe talina buyinza bugoba looya yakakasibwa mu mateeka n’aweebwa n’ebbaluwa okuwolereza abantu mu kkooti. N’agamba nti, obuyinza bwe yabadde alina bw’abadde bwa kumulabula oba okumugoba olunaku olwo lwokka n’afuna ekyokuyiga.

Sanywa yagambye nti, bagenda kumwetondera bw’anaaba agaanyi okukkiriza okwetonda kwabwe, bajja kujulira mu kkooti y’amagye esingako General Court Martial of Appeal etuula e Kimaka gye baba bafuna obwenkanya.

Yagambye nti, singa September 10, lwe baabalagidde okudda mu kkooti lutuuka nga tewali kituukiddwaako ku nsonga za Muyanja, bajja kuba tebalina kyakusalawo kubanga tebasobola kulinda kiseera kinene ng’abantu be bawolereza bavundira mu kkomera. Bajja kugenda mu kkooti nga bwe balinda okusalawo kw’abalamuzi abalala singa wanabeerawo okujulira