Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

By Stuart Yiga

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

Index 350x210

Omubaka akiikirira abantu ba Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, aguddwaako emisango gy’okugezaako okulya mu nsi ye olukwe (treason) nga kino kiddiridde okumusanga n’emmendu  mu woteeri eyitibwa  Pafic, esangibwa mu municipaali y’e Gulu.

Ekyama kino kibotoddwa amyuka ssaabaminisita asooka Maj. Gen. Moses Ali, bwe yabadde annyonnyola ababaka ba Palamenti abaabadde bamutadde ku ninga okumanya embeera y’ababaka bannaabwe  mwebali.

Ababaka abalala abaakwatiddwa kuliko omubaka wa Jinja East-Paul Mwiru, eyaliko omubaka wa Makindye East- Michael Mabikke, omubaka wa Municipaali y’e Mityana Zaake Butebi, n’eyaliko omubaka wa Terego, era ng’abadde omu ku besimbyeewo ku kifo ky’okujjuza omubaka wa Gulu, Kasiano Wadri.

Kigambibwa nti emmundu eyogerwako yasangiddwa mu kifo omubaka Kyagulanyi mw’abadde asula e Gulu.

Okusinziira ku Gen. Moses Ali, Kyagulanyi  yatwaliddwa mu ddwaliro ly’amagye e Gulu n’ajjanjabibwa oluvannyuma gy’asuubirwa okuggibwa atwalibwe mu kkooti y’amagye esangibwa mu kitundu ky’ekimu ku Lwokuna , avunaanibwe emisango gy’okusangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka saako okulya mu nsi ye olukwe.

Gen. Moses Ali era ategeezezza nti  abantu abalala abaakwatiddwa bagenda kutwalibwa mu kkooti zabulijjo bavunaanibwe okwonoona mmotoka ya Pulezidenti Museveni wamu n’okukuma mu bantu omuliro.

Newankubadde Moses Ali ategezezza nti abaakwatiddwa tewali yatulugunyiziddwa, kigambibwa nti ku bantu 33, abasinga ku bo, bapooca na biwundu oluvannyuma lw’okukubibwa ab’ebyokwerinda bwe baabadde e Gulu ku Lwokubiri.