Bobi Wine bamusibidde Makindye

By Musasi wa Bukedde

Ssentebe wa kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti yategeezezza Bobi Wine nti avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n’ebyokulwanyisa mu bukyamu ekimenya etteeka lya UPDF erya 2005.

Wamu 350x210

Ssentebe wa kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti yategeezezza Bobi Wine nti avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n’ebyokulwanyisa mu bukyamu ekimenya etteeka lya UPDF erya 2005.

Yamusindise ku limanda okutuusa ku Lwokuna nga August 23, 2018 lw’anaakomawo mu kkooti. Era n’alagira bamuleete mu nkambi y’amagye e Makindye.

Bobi Wine baamutadde ku nnyonyi eyatuukidde ku kisaawe ky’amagye e Ntebe n’afuna obujjanjabi ne balyoka bamuleeta e Makindye.

Bobi Wine n’ababaka Francis Zaake n’abalala baakwatiddwa Arua ku Mmande.

Baakubiddwa nnyo olw’ebigambibwa nti baakoze effujjo omuli okwonoona emmotoka ya Pulezidenti gye baayasizza endabirwamu.

Waliwo ebifaananyi ebyasaasaanye okuli ebyalagiddwa Barbie ebigambibwa okuba ebya Bobi Wine nga bimulaga ali ku kitanda azimbye ffeesi n’omukono ogumu ng’ali ku katanda era mukazi we bwe yabirabye n’ayongera okwecwacwana.

Mu Palamenti ku Lwokusatu, ensonga eno yeefuze olutuula lwonna era omubaka Jonathan Odur owa Erute South mu Arua n’ategeeza nti yafunye amawulire agalaga nti amawulire amagye we gaasaliddewo okuweereza ennyonyi ekime Bobi mu Arua, embeera yabadde yeeraliikiriza.

Yagambye nti mu nnyonyi baatwaliddemu abasawo b’amagye abaagenze bajjanjabe Bobi kyokka mu kumutuusa mu ddwaaliro ly’amagye ery’e Gulu nti n’azirika era nti kino kyabakanze ne batumya abasawo abakugu okuva mu nkambi y’e Bombo abaagenze ne beegatta ku b’e Gulu okutereeza embeera ya Bobi.

Wabula bino Moses Ali yabiwakanyizza n’agamba nti abaakwatiddwa baabadde bafunyeemu obuzibu mu kavuvuhhano nga bakwatibwa wabula nti embeera yaabwe okuli ne Bobi Wine yateredde.

 

Kigambibwa nti omubaka Zaake yasoose kujjanjabibwa mu ddwaaliro ly’amagye e Gulu, kyokka yaggyiddwaayo n’azzibwa mu kaduukulu k’amagye mu nkambi y’e Gulu.

Medard Seggona omu ku babaka abaateekeddwa ku kakiiko k’abantu omukaaga, sipiika ke yataddewo yagambye nti bagenda kulwana bwezizingirire okukakasa nti Bobi Wine addizibwa eddembe lye ng’omubaka wa Kyaddondo East.

Eddie Yawe mukulu wa Bobi Wine yagambye nti byonna bye banaatuusa ku muganda we, bakimanye nti tebiyinza kumutiisa kuva mu byabufuzi kubanga bibali mu musaayi.

Jjajja we ne kitaawe bonna beetaba mu ntalo ez’enjawulo ezaakyusa obukulembeze mu Uganda.

Yayongedde okusambirira emisango gy’okumusanga n’emmundu n’agamba nti alowooza nti mipangirire era balinze Gavumenti obujulizi bw’eneereeta.

Maj. Gen. Mugisha Muntu naye yagambye nti kimwewuunyisa Gavumenti okumala ennaku bbiri ng’eggalidde abantu ate n’evaayo n’ekibassaako nti yabakutte n’emmundu mu busenge bwa wooteeri.

Wadde Bobi Wine yabadde mu kkomera ne Kassiano Wadri nga bombi baggaliddwa, baasobodde okutuuka ku buwanguzi era Wadri n’alangirirwa ng’omubaka owa Arua Municipality.

Bobi Wine yagenda mu Arua okunoonyeza Wadri akalulu. Obuzibu bwaguddewo ku Mmande nga baakamaliriza kampeyini ezisembayo; amagye ne poliisi bwe baakubye amasasi agasse Yassin Kawuma eyabadde avuga emmotoka ya Bobi ey’ekika kya Tundra ne bamutta.