Engeri omuyaga gwa Bobi Wine gye gukyusizza akalulu

By Musasi wa Bukedde

OBUWANGUZI bwa Ezati Kassiano Wadri bwongedde okulaga nti kati Bobi Wine atandise okuseeseetula Dr. Kiiza Besigye okuva mu kifo ky’aluddemu ekyokubeera Munnabyabufuzi asinga ettutumu n’amaanyi ku ludda oluvuganya.

Bba 350x210

Abamu ku Bannabyafuzi ab’oludda oluvuganya baategeezezza Bukedde nti lino ssomo lye nnyini Bobi Wine ly’awadde Besigye okumulaga nti ekiseera kye eky’okukulembereza ekisinde eky’okukyusa gavumenti kyaggwaako dda, kye kiseera annyuke, Bobi Wine akwata enkasi kubanga alaze Bannayuganda nti asobola.

Bino biddiridde Bobi Wine okutuusa Wadri ku buwanguzi mu akalulu mu kalulu ak’okujjuza ekifo ekyali eky’omugenzi Col. Ibrahim Abiriga eyatemulwa nga June 8, 2018.

Ekifo kya Abiriga aba NRM ne FDC baabadde bakyagala nnyo ddala era baataddemu ssente n’obudde kyokka Bobi Wine eyaakayingira ebyobufuzi yabakomezza ku munaabo.

Wadri yalangiriddwa ku buwanguzi nga yawangudde n’obululu 6,421 n’addirira Nusura Tiperu owa NRM n’obululu 4,798, Robert Ejiku atalina kibiina n’akwata ekyokusatu n’obululu 2,694, Musema Bruce owa FDC yakutte kyakuna n’obululu 1,369.

Abalala ye Atima Jackson (835), Sunday Angudia (196), Jafar Alekua (38), Simon Avutia (32), Alfred Nyakuni (30), Madira Kennedy (26), Bavuga Safi (19) ne Elton Nyero (18). Guno mulundi gwa kusatu nga Bobi Wine awa Besigye ne NRM essomo ng’ogwasooka gwali mu kalulu ka Kyaddondo East ye yennyini (Bobi Wine) ke yawangula n’addamu n’abamegga e Bugiri nga kati abasiimuulizzaako ettoomi mu Arua Munisipaali.

Ebyavudde mu kalulu biraga nti ku maanyi gonna Dr. Besigye n’aba FDC abali mu nkambi ya Pulezidenti Patrick Amuriat Oboi ge baataddemu, baasobodde kukwata kifo kya kuna so nga FDC erina obuwanguzi bwa maanyi nnyo mu Arua n’ekitundu kya West Nile.

Mu kwewandiisa kw’abanaavuganya mu kalulu ka Arua okwaliwo nga 19 ne 20 July 2018, Wadri yali tasuubirwa kukwata wadde ekifo eky’omukaaga ku bantu 12 abeewandisa kubanga yali avudde mu Konsitityuwensi eya Terego gye yali akiikiridde emyaka 15 ng’abantu b’omu Arua Munisipaali bamutunuulidde nga nnakigwanyizi.

Abantu abaali basuubirwa okuwangula ye Bruce Musema owa FDC, oba Tiperu oba Robert Ejiku naye ssi Wadri, wabula kasita Bobi Wine yalangirira nti ali ku Wadri, ebintu byakyuka naddala olw’abamu ku b’oludda oluvuganya omuli n’aba FDC okuva ku Musema ne badda ku Wadri nga bagamba nti bbo bagenda na Bobi Wine w’asonze kubanga y’aliko ng’enjogera y’ennaku zino, nti Besigye ekiseera kye kyaggwaako.

Ng’ebula wiiki emu okutuuka ku kulonda, obubonero bwatandika okweyoleka nti Wadri y’alina enkizo ku beesimbyewo abalala bonna okuwangula akalulu nga kino kyava ku ngeri ebikonge mu FDC, DP n’ebibiina ebirala bye baali beegasse ku Bobi Wine wansi wa Kampeyini eyatuumiddwa Peoples’ Power eyeeyambisibwa mu kuwangula akalulu ak’e Bugiri Munisipaali gye yameggera aba NRM ne FDC.

Akalulu ka Arua kaabadde ak’obunkenke naddala oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Yassim Kawuma n’okukwatibwa kw’abantu abasoba mu 40 okwabadde n’ababaka ba Palamenti bana; Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, Francis Zaake, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga n’abantu abalala abasoba mu 40 okuli n’eyali omubaka wa Makindye East, Michael Mabikke.

Wadri yakawangulidde mu kkomera gye yaggaliddwa oluvannyuma lw’okukwatibwa ku Mmande ng’ebula olunaku lumu okulonda okubaawo ku Lwokusatu nga August 15, 2018 era waabaddewo okutya nti ayinza obutalangirirwa, kyokka akulira ebyokulonda mu Arua, Ruth Ococ Angom yalangiridde Wadri ku ssaawa nga zigenda mu 4:00 mu maaso nga ssentebe w’akakiiko k’Ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama.

Obuwanguzi bwa Wadri bwalese bunnyogozza nnyo enkambi ya NRM ate bbo aba FDC nga beemagazza.

Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Lumumba yategeezezza mu lukuhhaana lwa bannamawulire eggulo nti Wadri yabawangudde lwa njawukana mu NRM n’effujjo eryakoleddwa ab’oludda oluvuganya.

Okwawukanako nga bwe gwali e Bugiri aba FDC lwe baaweereza obubaka obuyozaayoza Asuman Basalirwa, ku luno aba FDC bakyalemeddwa okuyozaayoza Wadri wadde nga y’omu ku baatandika ekibiina kino era abadde mukulembeze okutuuka lwe yeewaggudde n’avuganya Musema eyabadde ne bendera ya FDC.

Walter Lubega Mukaku owa DP wabula nga yawagidde Wadri era nga yasimatukidde watono okukwatibwa mu Arua yategeezezza nti obuwanguzi Wadri bw’atuuseeko si bubwe oba oludda oluvuganya wabula bwa Bannayuganda abafungizza okulwanyisa obwannakyemalira bwa gavumenti eriko.

Mukaku eyavugananyaako ku bwa Pulezidenti, yategeezezza nti bbo aba Wadri tebatunuulidde njawukana ezaabaddewo mu kampeyini wabula bali ku kifaananyi ekigazi eky’okwegatta okulwanyisa obwannakyemalira.

Omubaka Francis Gonahasa nga wa FDC kyokka nga yawagidde Wadri yategeezezza nti ebyabade mu Arua bisaana okubeera ekyokuyiga eri ebibiina byonna naddala ku ludda oluvuganya okwetereeza ddala mu demukulaase waabyo ow’omunda.

Wabula Salaamu Musumba, omu ku bakulembeze ba FDC nga yabadde ku Musema yalumbye Bobi Wine nti ebyobufuzi bye eby’okutabulatabula n’okutaataaganya abalala tebirina lugendo mu by’obufuzi bya Uganda.