Trump baagala kumuggyamu bwesige

By Musasi wa Bukedde

Pulezidenti Donald Trump yeeyongedde mu kattu k’okumuggyamu obwesige olw’obujulizi obumuweereddwaako eyali looya we Michael Cohen omuli, okugugulira abakazi babiri abaali baganzi ba Trump basirikire ekyama ky’omukwano gwabwe.

Donaldtrump0 350x210

Ssinga bano baayasanguza ensonga eyo Trump yandibadde takkirizibwa kuvuganya ku Bwapulezidenti mu 2016. Cohen yakkirizza okubba emisolo, okunyaga bbanka.

Era n’akkiriza nga Trump bwe yamuwa obutitimbe bwa ssente ze yatwalira abakazi babiri abaali baganzi ba Trump okubagulirira baleme kumulemesa kulya Bwapulezidenti.

Omusajja omulala atadde Trump mu kattu ye Paul Manfort, eyakulira kampeyini za Trump eyasingisiddwa emisango gy’okulya enguzi n’okubba omusolo.

Abeekibiina kya DP ekivuganya ekya Trump baagala kukozesa misango gino okuggyamu Trump obwesige oluvannyuma lw’okulonda kw’ababaka mu November.

Kisuubirwa nti mu kulonda kuno ekibiina kya DP kijja kusinga aba Republican ababaka era kijja kuba kyangu okuyisaamu ekiteeso ekiggyamu Trump obwesige.

Kyokka Trump ayanukudde nti ensimbi ezaaweebwa abakazi tezaava ku za kampeyini era ekyo tekimuggyisaamu bwesige. N’agamba nti abasajja be abaasingisiddwa emisango buvunaanyizibwa bwabwe ng’abantu.

Ate ebyogerwa nti Cohen amanyi ebyama ku ngeri Russia gye yatabula akalulu ka Amerika okusobozesa Trump okuwangula, ebyo bijja kuba n’amakulu ng’obujulizi bumaze kuvaayo.

Abatunuulizi b’ebyobufuzi balaze okutya nti enjogera ya Trump alabika ng’atidde akalinga akabonero akalaga nti emisango yagizza.

Ku Lwokuna Trump yalabudde nti ssinga banaagezaako okumuggyamu obwesige, ebyenfuna bya Amerika bijja kusaanawo.

N’ajjukiza abalabe ba Amerika abakanudde amaaso okuli China ne Russia abajja okuyingirawo okufufuggaza ebyenfuna.

Looya wa Trump, Rudy Giuliani naye alabudde nti ssinga entegeka z’okuggyamu Trump obwesige zinaagenda mu maaso, Abamerika abamuwagira bajja kweyiwa ku nguudo beekalakaase mu ngeri etebangawo mu byafaayo by’ensi eyo.

Kino kijja kuwa akabonero akabi eri ensi yonna era y’eneeba entandikwa y’ensi okukkiriza okwekalakaasa ng’ekyokulwanyisa ekisinga n’emmundu amaanyi.