Omunigeria eyakwatiddwa ku bya kkampuni y'obufere ayogedde.

By Musasi wa Bukedde

Omunigeria nannyini kkampuni ya Development Channel eyakwatiddwa poliisi yeegaanye ebya kkampuni ye okuba ey'obufere.

Nam 350x210

Charles Nwabuikwu Lambert,44, Omunigeria nannyini kkampuni ya Development Channel eyakwatiddwa poliisi ku misango gy’okutandikawo kkampuni y’obufere yeewozezzaako.

Okusinzira ku mukutu gwa Facebook ya poliisi ya Kampala n’emirinaano (Kampala Metropolitan Police),

Nwabuikwu yakwatiddwa poliisi ya Kira Road oluvannyuma lwa ba ddeereva abasaabaza eby’amaguzi bya kkampuni eno okwegugunga ne batuuka ne ku mbeera y’okwagala okwokya ekizimbe kya kkampuni nga bagala okuggyayo nga bagamba nti amaze ebbanga nga tabasasula era babanja sseante eziri mu bukadde 127 ate abalala nga bemulugunya ku kkampuni gye bagamba nti ya bufere.

Wabula wadde ng’okusinzira ku poliisi, Nwabuikwu yaguddwako emisango egiri ku fayiro nnamba GEF 30/2018,

Ye agamba nti byonna ebimwogerwako bamusibako matu ga mbuzi kumulisa ngo.

Nwabuikwu eyasangiddwa ku offiisi ye e Kitintale agamba byonna ebyakoleddwa byabadde bipange byakoleddwa omuntu omu eyeekobaanye n’owa polliisi ne bamuteekako ebisango ebijweteke.

“Kituufu baddeereva babaddemu n’obuzibu mu bbo benyini era nayanguye okugenda webali okukakanya embeera. Oluvannyuma waliwo omuntu eyankubidde essimu nga ansaba obukadde 2 nti za kukutangira ggulire erinkwatako ku nsonga eno obutafuuluma ekintu kye naganye okukola okukakanga nga poliisi egamba enkutte.