‘Abavubuka temuzaala baana nga temunnatuusa’

By Musasi wa Bukedde

ABAVUBUKA basabiddwa okulekeraawo okwegatta mu by’omukwano nga tebalina kondomu bwe baba tebannatuusa kuzaala okusinga okufuna embuto ne baziggyamu oba okuzaala abaana ne babasuula ku kasasiro.

Data 350x210

Bino byayogeddwa Babra Mutagubya akulira Sanyu Babies Home e Mengo, ng’ayogera n’abavubuka b’ekibiina kya Vegas Promotions abaakyalidde ku baana bano n’okubatwalira ebikozesebwa.

Steven Ssuuna akulira ekibiina kino yeebazizza abakulira Sanyu Babies Home olw’omulimu guno. Baawaddeyo engoye, sukaali, ppampa, sabbuuni, sooda, amazzi, emigaati, obuwunga, amata n’ebirala.