Omulamuzi alagidde UPDF ne CMI okutwala Eddie Mutwe mu kkooti bunnambiro

By Edward Luyimbazi

OMULAMUZI Musa Sekaana owa kkooti Enkulu ku Tweed Towers e Nakasero ayisizza ekiragiro eri eggye lya UPDF, ekitongole kyakyo ekikessi ekya Chieftancy of Military Intelligence (CMI) wamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti okuyimbula oba okutwala mu kkooti Edward Sebuufu (Eddie Mutwe) eyakwatiddwa gye buvuddeko.

Eddymutwewithhisbossbobiwine1 350x210

Eddie Mutwe y’omu ku bakanyama ba Bobi wine.

Kino kiddiridde looya Eron Kiiza okutwala okwemulugunya kwe mu kkooti ng’awakanya okukwatibwa kwa Eddie Mutwe ne wayitawo essaawa 48 n ebalemwa okumuggulako omusango gwonna n’okumutwala mu kkooti.

Empaaba egamba nti nga August 25, 2018 amagye agakuuma pulezidenti aga Special Forces Command gaakwata Eddie Mutwe nga gaamusanga Kamwokya ku kizimbe kya Semakokiro ekya mukama we Bobi Wine.

Omulamuzi alagidde bamuleete mu kkooti ye nga September 4, 2018 amanye emisango egimuvunaanibwa oba okumuyimbula mu bwangu.